Amawulire

Eyabbye omwana n’amugabira muganziwe bamukutte

OMUWALA agambibwa okwefuula yaaya mu maka agamu n’abba omwana n’amutwalira bba nti yabadde amuzaalidde, akwatiddwa. Bino byabaddewo ku Lwokusatu, abaserikale okuva ku poliisi e Nateete bwe baalondodde Zainabu Adam eyabbye omwana mu maka ga Harriet Mudondo ow’e Lungujja - Kosovo gye yagenda nga yeefudde omukozi.

Kawala ng’akwasa Mudondo omwana we.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUWALA agambibwa okwefuula yaaya mu maka agamu n’abba omwana n’amutwalira bba nti yabadde amuzaalidde, akwatiddwa. Bino byabaddewo ku Lwokusatu, abaserikale okuva ku poliisi e Nateete bwe baalondodde Zainabu Adam eyabbye omwana mu maka ga Harriet Mudondo ow’e Lungujja - Kosovo gye yagenda nga yeefudde omukozi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, Zainabu omwana yamubba nga September 19, 2026.

“Twafunye omusango ku poliisi e Nateete ogw’okubbibwa kw’omwana ng’eyakikoze mukazi eyabadde yeefudde omukozi era abaserikale baakoze okunoonyereza ne bamukwata n’omwana n’azuulwa” Kawala bwe yagambye.
Yagambye nti mu kunoonyereza, abaserikale baasoose kukwata muganzi wa Zainabu gwe baalondodde nga bakozesa essimu n’abatuusa ku Zainabu gwe baakwatidde ku Arua
Park ng’agenda Arua. Yategeezezza nti muganzi wa Zainabu yabuulidde abaserikale nti yali amutegeezezza nti amuzaalidde abalongo wabula omu n’abuuka olwo n’amulagako omu ‘eyasigaddewo’.
ENGERI GYE YABBYEEMU OMWANA Maama w’omwana eyabbiddwa, Harriet Mudondo yagambye nti, omwana ono yamuzadde wiiki ewedde mu ddwaaliro e Kawaala wabula aba ali ku kitanda, Zainabu n’amutuukirira n’amusaba okumuyambako
okumulabirira. Agattako nti, yamusaba afuuke omukozi we ow’awaka, n’akkiriza
ne bagenda bonna e Kosovo. Yategeezezza nti, ku Lwomukaaga yafulumya engoye okwoza Zainabu n’asigala mu nnyumba ng’alabirira mwana kyokka bwe yaddayo mu
nnyumba nga bombi tabalaba! Kawala yagambye nti, Zainabu yagguddwaako ogw’okubba omwana ate omwana ne bamukwasa bazadde be

Tags: