POLIISI ezinzeeko ekkolero e Nalukolongo n’eziikula omukono gw’omukozi waabwe, ekyuma gwe kyatemyeko omukono ne baguziika mu bubba nga kigambibwa nti baakikoze kukweka bujulizi.
Omuvubuka Ivan Oboi, ekyuma kwe yabadde akola kyamukutuddeko omukono ne bamuddusa mu ddwaaliro lya St. Francis Nsambya ng’ataawa. Bino byabaddewo nga September 15, 2026 ku kkolero ly’obukutiya n’obuveera erya GNS Industries Ltd.
Bino okuvaayo, omuvubuka Ivan Oboi yamaze kukubira omu ku ba ffamire ssimu ng’amulaajanira nti obulumi bumutta bamuyambe ab’ekkolero baamusuulawo talina
buyambi ate n’omukono gwe tamanyi byagutuukako.
Aba ffamire kyabayitiriddeko era omu ku bakoddomi be, Musa Okello n’atemya ku poliisi eyamulagidde okuggulawo omusango nga guli ku ffayiro nnamba 95/23/09/2026 ku poliisi y’e Nateete. Abaserikale abaakulembeddwa Robert Kacumuse aduumira poliisi y’e Nateete, baatuuse ku kkolero abakozi ne basooka beegaana eby’okuziika omukono.
Poliisi yabalagidde bonna okufuluma ebweru n’eragira buli eyali akola ne Oboi adde ebbali, ne bakikola.
Ababadde bakola naye be baategeezezza poliisi nti baaguziika mmanju wa kkolero era poliisi n’eragira ne baguziikula. Babadde baaguzinga mu biveera ne bagussa mu kisawo era poliisi yakutte omukyala akulira abakozi Rhoda Natukunda, Tadeo Omukaga, n’omuserikale David nOyongo n’ebaggalira ku misango egy’enjawulo okuli n’okulagajjalira obulamu bw’abakozi. Omu ku ba ffamire ya Oboi yategeezezza poliisi nti abakulira ekkolero tebaabagamba nti omukono baguziise ate n’obujjanjabi baamuwa butono era abadde abakubira essimu ng’alaajana.
Wakati mu kwewozaako, ab’ekkolero baategeezezza nti, babadde bajjanjaba bulungi omukozi waabwe era nga balinze awone balyoke bakole ku by’okumuliyirira. Bagambye nti abamu ku ba ffamire baategeera ku by’okuziika omukono ogwo era baakikola lwa bulungi.
Wabula aba ffamire baabiwakanyizza ne bategeeza nti, obulumi bubadde bubula okutta omuntu waabwe. Poliisi omukono yagututte mu ggwanika nga bambega ba poliisi bwe bagenda mu maaso n’okunoonyereza. Omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti, bambega baabwe bali mu kunoonyereza ku mbeera eyaliwo, ekyuma kiryoke kisaleko Oboi omukono kubanga bannannyini kkolero ebyaliwo baali babisirikidde era bagguddwaako emisango egy’enjawulo