Amawulire

Ebyafaayo bya Moses Matovu

MOSES Matovu bagenze okumutta, nga yaakayimbira emyaka 51. Y’omu ku baatandika Afrigo band mu 1975 era y’abadde agikuumidde ku mutindo gw’eriko okutuusa olwaleero. Banne bangi bwe baagitandika baafa. 

Moses Matovu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MOSES Matovu bagenze okumutta, nga yaakayimbira emyaka 51. Y’omu ku baatandika Afrigo band mu 1975 era y’abadde agikuumidde ku mutindo gw’eriko okutuusa olwaleero. Banne bangi bwe baagitandika baafa.
ENGERI GYE YASOOKERA MU MUPIIRA N’ADDA MU KUYIMBA

Matovu yasambirako mu Nakivubo Boys, ttiimu ya Lint Marketing Board eyanoonyanga obutale bw’ebintu nga ppamba, Express FC, Fiat FC, Police FC n’endala. Eby’okusamba omupiira yabikendeeza mu 1972 n’anywerera ku kuyimba.
Yatandikira mu Thunderbirds Band n’adda mu Police Band mu 1968 engeri gye yalina akakwate ku poliisi mu by’omupiira ate eyo gye yava n’adda mu Cranes Band. Olwava eyo n’adda mu Afrigo eyatandika mu 1975.
Ye yagitandika ne banne ng’abasinga baafa. Baatandikira ku Bat Valley Bar era eyaliko ne wooteeri eyitibwa Bat Valley Restaurant mu Kampala, Little Flowers, gye baava ne bagenda ku Obligato ku Old Port Bell Road ate oluvannyuma ne baddayo ku Bat Valley ekifo ne bakituuma The New Obligatto ku Bombo road we baasinga okukubira.
Kyokka baacaaka nnyo bwe baakubiranga e Ggaba buli wiiki era ne bayimba n’ennyimba ezaacaaka ennyo ng’emyaka gy’ekinaana giggwaako omwali; Afrigo batuuse n’Amazzi g’ennyama.
EBIKWATA KU MATOVU EBIRALA
Azaalibwa Kawempe nga June 19, 1949. Kitaawe ye Abdallah Bukenya ate nnyina ye Solome Nakitto.
Okuyimba yakutandika akyali muto e Mengo gye yagenda n’abeera ne maama we olwo nga takyabeera na kitaawe.
Eyo gye yeegattira ku kkwaaya ya Namirembe Cathedral nga wa myaka ena. Yasomera ku Namirembe Primary School e Mengo. Eyo gye yava n’agenda e Kibuli Secondary School n’amalira ku Pillai’s Secondary School.
EZIMU KU NNYIMBA ZA MATOVU NE Z’ALINAMU OMUKONO MU AFRIGO
Afrigo Batuuse
Speed Controlly
Nantongo
Jim (olwa Joanita Kawalya)
Obangaina (olwa Racheal Magoola)
Maria
Amazzi g’ennyama
Mpa eddembe (Joanita Kawalya)
Olumbe lw’obwavu.
Katonda yakola abakazi n’abalungiya (Teri mubi)
Zino wammanga ye yaziwandiika;
Sirina anantwala, Emiziro, Genda osome ne Afrigo Batuuse

Tags: