Omusajja agambibwa okutta bbebi ow'emyezi etaano gw’azaala oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne mukyala we, poliisi emukutte.
Kino kiddiridde okufuna obutakkaanya ne mukyala we era n'amugoba nga teyasuze mu muzigo mwe baabadde.
Kitegeezeddwa nti bwe yazzeeyo enkeera mu loogi ey’ebibaawo mwe baabadde, kwe kusanga omwana ng'aliko ebisago era nga mufu kwe kutemya ku poliisi.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bali mu kwekebejja mulambo nga bwe banoonyereza okuzuula ekituufu