Amawulire

Kkooti egobye omusango Male Mabiriiizi gwe yali yawawaabira Gen. Muhoozi n'aba PLU

Omulamuzi Paul Gadenya Wolimbwa mu nsala ye agambye nti ebirayiro Mabiriizi bye yateeka mu kkooti byali tebirina bujulizi bumatiza ku misango gye yali ayagala okuggula ku Gen. Muhoozi ,bw’etyo kkooti n’emugoba.

Kkooti egobye omusango Male Mabiriiizi gwe yali yawawaabira Gen. Muhoozi n'aba PLU
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI egobye omusango munnamateeka Male Mabiriizi gw’abadde yassaamu ng’awawaabira CDF Gen Muhoozi Kainerugaba n’aba PLU 17 bwe yali ayagala  emukkirize baggulweko emisango.

 

Omulamuzi Paul Gadenya Wolimbwa mu nsala ye agambye nti ebirayiro Mabiriizi bye yateeka mu kkooti byali tebirina bujulizi bumatiza ku misango gye yali ayagala okuggula ku Gen. Muhoozi ,bw’etyo kkooti n’emugoba.

Gen. Muhoozi Mabiriizi gwe yali awawaabidde

Gen. Muhoozi Mabiriizi gwe yali awawaabidde

Mabiriizi yali addukidde mu kkooti eno ng’ajulira ensala ya kkooti y’eddaala erisooka e Nakawa eyagoba okusaba kwe kwe yali agamba nti bannakisinde kya PLU nga February 7, 2024 ku plot 7, Sandler Lane e Naguru mu Kampala baategeka ekibinja ky’abantu mu ngeri emenya amateeka ,beekobaana okuzza omusango nga beeyisa nga bannakibiina ba kabinja akamu akaliwo mu bumenyi bw’amateeka era abagenderera okunoonyeza ekibinja ekyo obuwagizi.

 

Be yawawaabira kuliko Gen Muhoozi Kainerugaba ssentebe wa PLU, Captain Mike Mukula, Frank Tumwebaze, Magaret Muhanga, Harriet Ntabazi, Godfrey Baluku Kabyanga, Haruna Kasolo Kyeyune, ne Michael Mawanda Maranga.

 

Mu balala mulimu, David Kabanda, Kisos Abdi Fadhil Chemaswet, Alex Ruhunda, Ojara Mapendunzi, Jimmy Lwanga, Twaha Kagabo Mzee, Fred Muhangi, Simon Lutaaya Muyanga, Cedric Babu Ndirima ne Minisita Balaam Barugahare.

 

Mabiriizi abadde ayagala kkooti ekkirize eggule emisango ku bakulu abo kyokka omulamuzi agambye omuwaabi yeetaaga okuleeta amazima okulaga nti omusango gwazzibwa era abawawaabirwa gubakwatako n’engeri ebikolwa bya bano gye byazzaamu omusango. Emisango Mabiriizi gy’ayagala giva ku kutongoza kisinde kya PLU ky’agamba nti kiriwo mu bukyamu.

Tags:
Amawulire
PLU
Muhoozi
Mabiriizi Male