OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima, asabye Gavumenti edduukirire amaka agaafiiriddwako abantu 4 oluvannyuma lw'ekikomera okugwira amayumba mu zzooni y’e Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira, mu nkuba ey’amaanyi eyafudembye.
Mu kwanukula ku nsonga eno, minisita omubeezi ow’ebigwabitalaze Lillian Aber, (mukazi, Kitgum), yasabye Naluyima okuwaayo amannya g’abo abaafudde ne lipooti ewandiikiddwa, asobole okutegezaako abakozi b’ekitongole ku nsonga z’obuyambi obuyinza okuweebwa abaasimattuse ne ffamire zaabwe.