Amawulire

Effumbiro eryawemmenta obukadde 350 ku ddwaaliro lya gavumenti e Packwach liiwuniikirizza minisita Balaam!

MINISITA wa gavumenti z'ebitundu, Balaam Barugahara awuniikiridde abatuuze ba Panyimur Tawuni kkanso bwe bamulaze ekiyungu ky'eddwaliro ekyawemmenta obukadde 350!

Effumbiro eryawemmenta obukadde 350 ku ddwaaliro lya gavumenti e Packwach liiwuniikirizza minisita Balaam!
By: James Magala, Journalist @New Vision

MINISITA wa gavumenti z'ebitundu, Balaam Barugahara awuniikiridde abatuuze ba Panyimur Tawuni kkanso bwe bamulaze ekiyungu ky'eddwaliro ekyawemmenta obukadde 350!

Effumbiro eriri embega ku kkono, eryamalawo obukadde 350 okulizimba!

Effumbiro eriri embega ku kkono, eryamalawo obukadde 350 okulizimba!

Mu kulamba amalwaliro mu disitulikiti y'e Pakwach, Balaam ebigambo bimuweddeko bwe bamututte ku ddwaliro lya Panyimur Health Centre gye bamulagidde ekiyungu ky'eddwaliro abakugu kye bagamba nti kyasaasaanyizibwako obukadde 350 ze bagamba nti tekisobola.

Wakati mu kwewuunya alagidde aba State House Anti-Corruption Unit okunoonyereza ku butya ensimbi obukadde 350 bwe zaakozesebwa okuzimba ekiyungu ekifaanana kityo .

Minisita Balaam n'abakungu abalala nga balambula Panyimur Health Centre erina effumbiro eryawemmenta obukadde 350!

Minisita Balaam n'abakungu abalala nga balambula Panyimur Health Centre erina effumbiro eryawemmenta obukadde 350!

Abantu b'e Pakwach basiimye Balaam olw'okuvaayo ku nsonga y'ekiyungu nga bagamba kibadde kibasuza bakukunadde.

Tags:
Amawulire
Packwach
Ffumbiro
Ddwaaliro
Gavumenti