POLIISI e Buddo, ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku ffamire y'abantu bana abagambibwa okufuna obuzibu mu nnyumba ne baziyira olwa ssigiri.
Bino byabaddde Naggalabi Buddo mu ggombolola y'e Nsangi mu Wakiso, abantu abaffamire bwe baafunye obuzibu , omwana omu Marvin Mutonzi n'afa ate abalala ne baweebwa ebitanda ng'embuto zibaluma nga kwe bagasse n'okusesema.
Abamu ku batuuze baagambye nti bano, bandiba nga balidde butwa kyokka omwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala, agambye nti omukozi w'awaka y'aliba nga yalese ssigiri okuli ebijanjaalo mu nnyumba nga kye kyavuddeko obuzibu.