Amawulire

Abaaganyulwa mu pulogulaamu ya 'Youth Wealth Creation' basiimye Pulezidenti Museveni okubabbulula mu bwavu

ABANTU okuva mu munisipaali y’e Lubaga, abaaganyulwa mu nteekateeka y’amaka g’Obwapulezidenti eya, Youth Wealth Creation Program, ey’okusitula ebyenfuna by’abantu abali mu mirimu gya wansi balaze essanyu olw’engeri pulogulaamu eno gy’esituddemu ebyenfuna byabwe.

Abaaganyulwa mu pulogulaamu ya 'Youth Wealth Creation' basiimye Pulezidenti Museveni okubabbulula mu bwavu
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

ABANTU okuva mu munisipaali y’e Lubaga, abaaganyulwa mu nteekateeka y’amaka g’Obwapulezidenti eya, Youth Wealth Creation Program, ey’okusitula ebyenfuna by’abantu abali mu mirimu gya wansi balaze essanyu olw’engeri pulogulaamu eno gy’esituddemu ebyenfuna byabwe.

Abamu ku bakyala abaganyuddwa mu Lubaga nga bali ku midaala gyabwe egya chipusi

Abamu ku bakyala abaganyuddwa mu Lubaga nga bali ku midaala gyabwe egya chipusi

Okuyita mu Jane Barekye, avunaanyizibwa ku maka g’Obwapulezidenti, abantu abasoba mu 600, mu munisipaali eno be baayambibwako n’ebintu bye bakozesa mu bizinensi.

Omukwanaganya waayo, Faizal Ndase, bw’abadde alambula abantu bano mu Lubaga, alaze essanyu bw’asanze ng’abantu bonna abaaweebwa ebintu embeera zaabwe zikyuse era bano bamutumye abeebalize pulezidenti Museveni ne Jane Barekye.

Ndase abeebazizza okulonda NRM mu bululu obwakaggwa era n’abategeeza nti pulezidenti waakwongera okubawagira.

Tags:
Amawulire
Pulezidenti Museveni
Kusiima
Kuganyulwa
Pulogulaamu