Amawulire

Eyatta omukulu w’ekika ky’Endiga bamusalidde akalabba n’asigala ng’awera

KKOOTI esindise Tabula Luggya Bbosa ne Noah Lugya abatta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, Yinginiya Daniel Bbosa Kakeedo bawanikibwe ku kalabba olw’ettemu lino.

Tabula Luggya Bbosa (ku ddyo) ng’akaabira mu kkooti okwetonda ku kikolwa kye yakola.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI esindise Tabula Luggya Bbosa ne Noah Lugya abatta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, Yinginiya Daniel Bbosa Kakeedo bawanikibwe ku kalabba olw’ettemu lino.

Oluvannyuma lw’emyaka ebiri n’ekitundu, aba ffamire y’omugenzi Bbosa Kakeedo bagamba nti, baafunye obwenkanya era awo basobola okukkakkanirawo, kubanga omuntu waabwe teyalina musango.

Ye Tabula olwamaze okukatyemula nti, agende attibwe, yaweerezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Katikkiro Charles Peter Mayiga obubaka nti, kaagende bamutte naye bakimanye nti, obwa Lwomwa bwa ffamire ye era ne bwe buliba ddi, ebyatuuka ku Ying.

Bbosa bijja kuddamu bituukeewo, singa tebatereeza nsonga eno. Ying. Bbosa we baamuttira ye yali akulira ekika ky’Endiga naye nga Tabula awakanya obukulu bwe, ng’agamba nti, emyaka 400 emabega, waliwo abakujjukujju abaawamba obukulu bw’Ekika, era nga bano Bbosa be yasikira, ekitegeeza nti, naye teyali mutuufu kubeera ku bukulu buno.

Omugenzi Ying. Daniel Bbosa Kakeedo eyali Lwomwa eyattibwa.

Omugenzi Ying. Daniel Bbosa Kakeedo eyali Lwomwa eyattibwa.


ENGERI BBOSA GYE YATTIBWAMU
Ying. Daniel Kakeedo Bbosa, yakubwa amasasi agaamuttirawo, nga February 25, 2024, bwe yali ayingira mu makaage agasangibwa e Lungujja mu zzooni ya Kikandwa, ng’ava ku mukolo gw’okukyalira ku bazzukulu be abava mu Ssiga lya Ssekoba, e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono.
Omutuuze Abdul Katabaazi eyali okumpi awo nga bakuba Bbosa amasasi, yeevaamu n’agoba abatemu bano, ng’ali wamu ne munne Amos Mukisa, era bwe baatuuka mu zzooni ya Bulange A, emmundu n’etalantuka n’egwa mu mpagi za pikipiki, abatemu ne bagwa wansi.
Katabaazi yabaka Luggya ne bubeefuka, okutuusa abatuuze bwe bajja ne batandika okubakuba emiggo, okukkakkana nga Enock Sserunkuuma eyali avuga pikipiki attiddwa, ate ye Luggya n’asimattuka ng’asigaddeko kiyiriitira.

Poliisi yajjanjaba Luggya n’adda engulu, n’ababuulira engeri Tabula gye yaluka olukwe n’abafunira n’emmundu n’abasindika okutta yinginiya Bbosa.
POLIISI EBAKWATA
Poliisi yakola ekikwekweto eky’amaanyi n’eyoola abantu abawerako okwali Noah Luggya, omutuuze w’e Kabanga mu Mpigi Town Council, Harriet Nakiguli omutuuze w’e Nkere Corner Zooni mu munisipaali y’e Kawempe, Joseph Nakabaale omutuuze w’e Ggala mu Mpigi Town Council, Ezra Mayanja omutuuze w’e Kiganda zzooni mu Munisipaali y’e Kawempe ne Milly Naluwenda eyali omuwandiisi wa kkooti ya Kisekwa, nga mutuuze mu Wakaliga zzooni VII mu munisipaali y’e Lubaga, mu muluka gw’e Lungujja.
Ye Luggya omutwe omukulu yakwatibwa luvannyuma nnyo, nga baamukukunula mu Kimerika ekisangibwa e Namulonge mu ggombolola y’e Busukuma, gye yali yeekukumye.
Tabula we baamukwatira yali amaze ebbanga lya nnaku 176 (zessaawa 4,224) ng’aliira ku nsiko, oluvannyuma lw’ettemu lino. Baamukwata August 19, 2024.


ENKAAYANA ZA TABULA NE BBOSA KU BWA LWOMWA
Mu mboozi ey’akafubo Tabula gye yalimu ne Bukedde TV nga tannaba kutta Bbosa, yagamba nti, okugenda mu kkooti ya Kisekwa okuloopa Bbosa nti, obukulu bw’Ekika abuliko mu bukyamu, kyali kitutte emyaka 487 ng’obwa Lwomwa buvudde mu layini entuufu ng’abantu ababulya bakyamu.

Mu mpaaba ye Tabula agamba nti, Lwomwa eyasooka Kalyesubula yaleka omwana omuto Kamya Tabula nga
Lwomwa, naye olw’okuba yali muto, baamuteerako abantu basatu babeere abakuza, okuli Sserunkuuma e Mpami, Luwanga e Mpami ne Namusota e Maziba.

Kyokka ebifundikwa n’amafumu eby’obwa Lwomwa,byaterekebwa ewa Ssekkoba, avaamu Essiga lya Ssekkoba mu kika ky’Endiga, nga yali waakubiwa Kamya ng’akuze, era ekyali kigendererwa kyali kya kulemesa abakuza bano okwezza obwa Lwomwa.


Nti kyokka abakuza bano baakozesa omukisa guno ne batandika okwewa obwa Lwomwa, era nga babutambuza mu mpalo, mu layini y’abo abasatu abaali abakuza okumala emyaka egyo gyonna.
Tabula annyonnyola mu mpaaba ye nti, ne Bbosa omugenzi naye yali ava mu layini eyo eya bajjajaabe abaali bezza obwa Lwomwa, mu ngeri ey’olukujjukujju.


Kkooti ya Kisekwa bwe yamala okukakasa nti, Tabula ye Lwomwa omutuufu kubanga ava mu layini ya Kamya Tabula, Bbosa yajulira ewa Kabaka era Mengo n’eragira nti, Bbosa agira akyali ku bwa Lwomwa, okutuusa nga Kabaka awadde ensala ye, ekintu Tabula ky’agamba nti, yalaba ng’ekyokumulwisa n’okumubuzaabuza, n’asalawo okugyawo Bbosa, obwa Lwomwa busobole okudda mu layini entuufu

 

Tags:
ekika ky’Endiga
Katikkiro Charles Peter Mayiga
Tabula Luggya Bbosa
Yinginiya Daniel Bbosa