OMUKULU w’Ekika ky’Endiga, Omutaka Lwomwa, Eria Buuzaabo Lwasi akunze bazzukulu be okumwegattako okussaawo polojekiti ezinaayimirizaawo emirimu gy’Ekika. Lwasi nga ye Lwomwa ow’e 18 agamba nti ayagala kulaba ng’Ekika kibeera n’ebintu omuva ensimbi, ezitambuza emirimu nga tekiyimirirawo ku kabbo kokka okuva mu bazzukulu! “Ekimu ku bye njagala okuyitamu, y’enkulaakulana eyitira mu masiga 17. Buli limu naliwadde ekkatala buli mwezi okuweereza ku kasolya 750,000/-. Zino singa zituuka, zikozesebwa mu bintu bye twagala okukola,” Lwomwa bwe yagambye. Nga December 7, omwaka guno, abazzukulu baakung’aanidde ku butaka bw’ekika kino e Mbaale mu Mpigi mu ssaza ly’e Mawokota okulamaga era Lwomwa n’awa ekiragiro nti atasobola buweereza ku mitendera gyonna okuli ensonga z’eddiini, azzeeyo ekifundikwa. Ebimu ku bigenda okukolebwa by’ebimuli omukolerwa emikolo ku ofiisi y’Ekika e Mmengo okuliraana ennyanja ya Kabaka. Okukola ekkaddiyizo ku butaka n’ekittavvu ky’Ekika.