Abantu babiri bafiiriddewo ate abaana abalala bana ne baweebwa ebitanda mu ddwaaliro e Mubende oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje akabadde ku luguudo lwa Mityana - Mubende highway.
Akabenje kabaddewo ku ssaawa nga bbiri n'ekitundu mu kiro ekikeesezza leero e Kagavu mu Ggombolola y'e Kalonga mu disitulikiti y'e Mubende, tuleera nnamba UBK 132F n'ekyana kyayo nnamba UBK 710 J ebadde eva e Mubende,

Kasiringi nga eggyawo tuleera eya egwiiridde emmotoka entono Nissan
Abafudde n'abalumiziddwa, bonna, babadde mu mmotoka entono. Abafudde kuliko Kenneth Kaijuka 45 n'omulala atannamanyika mannya.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti bakyafuba okujja emmotoka mu kkubo, ebidduka bisobole okuddamu okutambula obulungi.