Poliisi e Mukono ekoze ekikwekweto n'eyoola abantu bataano abagambibwa okubeera ab’omutawaana mu kubba n'okutigomya abatuuze.

Ebimu ku bintu bye baabakutte nabyo
Poliisi yasobodde okwetegereza obutambi n'eyigga abantu bano n'ebakwata era nga ku bo , kuliko abaana abato bana n'omukulu omu .
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti omuyiggo gw'abalala gugenda mu maaso , okulaba nga balwanyisa obumenyi bw'amateeka mu kitundu.