Amawulire

Abatunda ebyamaguzi wabweru w'eggwanga beemulugunyirizza Minisita Sanjay

Abasuubuzi abatunda ebyamaguzi bya Uganda wabweru w'eggwanga balaze okutya nti eggwanga lyandifiirwa ssente eziri eyo mu bukadde bwa ddoola 2 singa omwezi gwa August guggwaako nga gavumenti tenaggulawo mu butongole ekibangirizi kya bannamakolero e Ntebe ku kisaawe kya  " Entebbe International Airport Free Zones Authority and Export Promotions Authority"

Minista w'ebyobusuubuzi Sanjay Tanna (wakati) , akulira bannamakolero Dr . Ezra Muhumuza n'akulira ekitongole Kya UFZEPA Hezi Kimoome Alinda mu lukungana lw'abasuubuzi ne bannamakolero
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Abasuubuzi abatunda ebyamaguzi bya Uganda wabweru w'eggwanga balaze okutya nti eggwanga lyandifiirwa ssente eziri eyo mu bukadde bwa ddoola 2 singa omwezi gwa August guggwaako nga gavumenti tenaggulawo mu butongole ekibangirizi kya bannamakolero e Ntebe ku kisaawe kya  " Entebbe International Airport Free Zones Authority and Export Promotions Authority"

 

Bategeezezza nti ekifo kino kyawemmenta ssente mpitirivu okukizimba n'ekigendererwa eky'okutumbula omutindo gw'ebyamaguzi Uganda by'etunda munsi z'ebweru era kyalina kuggulibwawo ku ntandikwa y'omwaka guno naye ebyembi ne gye buli eno gavumenti ekyalemereddwa okussa omukono ku ndagaano okuwa olukusa abalina okukiddukanya  batandike okukola.

 

Akulira abasuubuzi abatunda ebyamaguzi bya Uganda wabweru w'eggwanga, Samuel Balagadde yategeezeza nti "European Union" yali yasuubiza okubawa ssente obukadde 2 eza ddoola zibayambeko mu nzirukanya ennungi ey'ekifo kino nga kigguddwaawo naye kati bataddewo obukwakulizo nti singa omwezi guno guggwaako nga gavumenti tennaggulawo kifo kino ssente ezo baggya kuba bazizzaayo baleme kuziwa Uganda .

 

Akulira ekitongole kya Uganda Free Zones and Export Processing Authority, Hezi Kimome Alinda naye yagasse eddoboozi lye ku ly'abasuubuzi bano n'awanjagira be kikwatako okukiggulawo, n'agamba nti mu myaka ebiri sinakindi esatu nga kitandise okukola balina essuubi nti Uganda egya kusobola okutunda ebintu ebiri eyo mu ssente obukadde 113 eza ddoola ku katale k'omu mawanga g'ebweru.

 

 

Ku kifo kino okusinga baggya kuba bakung'aanyizaawo ebirime ebya buli kika ebibeera bigenda okugenda kunnyonyi bituusibwe mu katale k'amawanga g'ebweru so nga ate era n'abasuubuzi abali mu mulimu ogw'okutunda ebintu ebyo mu mawanga ago baggya kubangulwa kubyeekusa ku mutindo gw'ebyamaguzi amawanga ago ge byetaaga.

 

Abasuubuzi omwabadde ne bannamakolero okwekubira enduulu basinzidde mu lukung'aana olwayindidde mu kifo kino kyennyini ekya 'Free Zone' ku kisaawe e Ntebe nga lwetabiddwaamu ne Minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero, Sanjay Tanna ng'ono gwe bawanjagidde okukola ku kusomoozebwa kwabwe. 

 

Mu kubaanukula, Minista yabawadde essuubi nti mu wiiki eno yennyini okusaba kwabwe kugenda kukolebwako era gavumenti yakuteeka omukono ku ndagaano ebawa obuyinza okutandika okukozesa ekifo kino mu butongole.

 

Sanjay era yategeezezza nti ku mulundi guno essira baggya kuliteeka ku kyakukubiriza abantu okulima ebirime ebirina obutale munsi z'ebweru okwewala okufiirizibwa okubaddewo gamba  nga abasinga obungi bwe baalima 'vanira' ate n'abadibirira. 

Tags: