Amawulire

Abakozi abagambibwa okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo baggaliddwa

WABADDEWO okusattira mu bakozi ba gavumenti mu diviizoni y’e Nansana bwe babadde bakunyizibwa ku nsaasaanya ya ssente egambibwa okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo okukkakkana ng’abamu bawalabanyiziddwa poliisi okwongera okunoonyerezebwako.

Abakozi abagambibwa okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo baggaliddwa
By: Steven Kiragga, Journalist @New Vision

WABADDEWO okusattira mu bakozi ba gavumenti mu diviizoni y’e Nansana bwe babadde bakunyizibwa ku nsaasaanya ya ssente egambibwa okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo okukkakkana ng’abamu bawalabanyiziddwa poliisi okwongera okunoonyerezebwako.

Rdc Mbabazi ng'ayogerako eri abatuuze.

Rdc Mbabazi ng'ayogerako eri abatuuze.

Bano babadde mu kimeeza ekyategekeddwa RDC wa Wakiso Justine Mbabazi ng’ono yasoose kukunya tawuni clerk wa diviizoni y’e Nansana, Rossette Namiiro annyonnyole engeri gye baagulamu ttanka ya mazzi obukadde obusoba mu 10, entebe ezituulwako mu ssomero, okugulwa emitwalo 29 buli emu ne birala wakati mu nduulu okuva mu batuuze obwedda abawaga nti baagala nsasanya ntuufu.

Ate ye Peter Nsubuga omu ku bakozi ba diviizoni yatwaliddwa poliisi agiyambeko mu kunoonyereza ku ngeri diviizoni eno gye yagulamu enkoko z'omwezi ogumu ku 1,5800 buli kakoko abatuuze kye bagamba nti omuwendo gwapaaluusibwa.

Poliisi Ng'ewabanya Nsubuga Ayongere Okunoonyerezebwako.

Poliisi Ng'ewabanya Nsubuga Ayongere Okunoonyerezebwako.

Wano RDC wa Nansana Charles Lwanga we yasinzidde n’awera nga bwe batagenda kuttira ku liiso muntu yenna anaasangibwa nga yeenyigidde mu bikolwa by'okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo n’asaba abatuuze okuloopa yenna abasaba ssente okuganyulwa mu pulojekiti nga PDM, Emyoga ne birala.

Abatuuze abazze mu nsisinkano y'okunyweza ensaasaanya y'ensimbi y'omuwi w'omusolo

Abatuuze abazze mu nsisinkano y'okunyweza ensaasaanya y'ensimbi y'omuwi w'omusolo

Wano abatuuze we baasabidde abakulembeeze okukola ku nsonga ezibaluma omuli omusolo ogugerekebwa n'ensolooza etamatiza,amasomero ga gavumeti agasasuzza abaana, amalwaliro agapeeka abalwadde ssente okubakola n’ebirala ne bagamba nti enkola eno yaakuyamba okunnyikiza obwerufu n'obumu mu Nansana.

Tags:
Musolo
Nansana
RDC
Kwonoona
Ssente
Kuggalibwa