BBAASI omukaaga ku ezo 10 ezigambibwa okutambuza abayizi okubatwala e Tanzania ku by'emizannyo, zikwatiddwa poliisi ku lutindo enjeru e Jinja , abazivuga ne babalagira okuzzaayo abayizi ku masomero olw'obutabeera na bisaanyizo.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agamba nti baddereeva ababiri, tebaabadde na bbaagi, ababiri nga bbaagi zaabwe zaggwaako , omu nga talina musolo ogwa PMO ate omulala nga pamiti gy'alina temukkiriza kuvuga bbaasi.
Kananura agasseeko nti endala ennya, zakkiriziddwa okweyongerayo n'agattako nti wadde baddereeva baafuna olukusa okuva mu minisitule y'ebyenjigiriza okutambuza abayizi , nti era basaana okugoberera amateeka g'oku nguudo.