WABADDEWO okusattira mu bakozi ba gavumenti mu diviizoni y’e Nansana bwe babadde bakunyizibwa ku nsaasaanya ya ssente egambibwa okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo okukkakkana ng’abamu bawalabanyiziddwa poliisi okwongera okunoonyerezebwako.

Rdc Mbabazi ng'ayogerako eri abatuuze.
Ate ye Peter Nsubuga omu ku bakozi ba diviizoni yatwaliddwa poliisi agiyambeko mu kunoonyereza ku ngeri diviizoni eno gye yagulamu enkoko z'omwezi ogumu ku 1,5800 buli kakoko abatuuze kye bagamba nti omuwendo gwapaaluusibwa.

Poliisi Ng'ewabanya Nsubuga Ayongere Okunoonyerezebwako.
Wano RDC wa Nansana Charles Lwanga we yasinzidde n’awera nga bwe batagenda kuttira ku liiso muntu yenna anaasangibwa nga yeenyigidde mu bikolwa by'okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo n’asaba abatuuze okuloopa yenna abasaba ssente okuganyulwa mu pulojekiti nga PDM, Emyoga ne birala.

Abatuuze abazze mu nsisinkano y'okunyweza ensaasaanya y'ensimbi y'omuwi w'omusolo
Wano abatuuze we baasabidde abakulembeeze okukola ku nsonga ezibaluma omuli omusolo ogugerekebwa n'ensolooza etamatiza,amasomero ga gavumeti agasasuzza abaana, amalwaliro agapeeka abalwadde ssente okubakola n’ebirala ne bagamba nti enkola eno yaakuyamba okunnyikiza obwerufu n'obumu mu Nansana.