MINISITA wa gavumenti z'ebitundu, Balaam Barugahara awuniikiridde abatuuze ba Panyimur Tawuni kkanso bwe bamulaze ekiyungu ky'eddwaliro ekyawemmenta obukadde 350!

Effumbiro eriri embega ku kkono, eryamalawo obukadde 350 okulizimba!
Wakati mu kwewuunya alagidde aba State House Anti-Corruption Unit okunoonyereza ku butya ensimbi obukadde 350 bwe zaakozesebwa okuzimba ekiyungu ekifaanana kityo .

Minisita Balaam n'abakungu abalala nga balambula Panyimur Health Centre erina effumbiro eryawemmenta obukadde 350!
Abantu b'e Pakwach basiimye Balaam olw'okuvaayo ku nsonga y'ekiyungu nga bagamba kibadde kibasuza bakukunadde.