Poliisi y'ebidduka, ekyagenda mu maaso n'ebikwekweto okukwata badereeva abalemeddwa okugondera ebiragiro byokunguudo.
Emmotoka ssatu ekika kya Toyota Noah zikwatiddwa e Ibanda lwa kutikka bayizi kabindo n'abamu nga bassiddwa mu bbuutu .

Emmotoka nga etisse abayizi akabindo
E Mityana, bbaasi ya kampuni ya Link nayo ekwatiddwa lwa kutikka kabindo era kondakita naye bamuggalidde.

Bbaasi ya Link ekwatiddwa olw'okutikka akabindo
E Mubende dereeva wa kamunye bamukutte naye lwa kutikka kabindo waggulu..
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, ategeezezza nti si bakussa mukono okutuusa mukono okutuusa ng'empisa zikomyewo ku nguudo.