Amawulire

Poliisi ekutte emmotoka ssatu e Ibanda lwa kutikka bayizi kabindo n'abamu nga bassiddwa mu bbuutu .

Poliisi y'ebidduka, ekyagenda mu maaso n'ebikwekweto okukwata badereeva abalemeddwa okugondera ebiragiro byokunguudo. 

Emmotoka nga etisse akabindo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi y'ebidduka, ekyagenda mu maaso n'ebikwekweto okukwata badereeva abalemeddwa okugondera ebiragiro byokunguudo. 

Emmotoka ssatu ekika kya Toyota Noah zikwatiddwa e Ibanda lwa kutikka bayizi kabindo n'abamu nga bassiddwa mu bbuutu . 

Badereeva abasatu bagiddwako sitatimenti ne babaggalira ng'okunoonyereza kugenda mu maaso. 

Emmotoka nga etisse abayizi akabindo

Emmotoka nga etisse abayizi akabindo

E Mityana, bbaasi ya kampuni ya Link nayo ekwatiddwa lwa kutikka kabindo era kondakita naye bamuggalidde. 

Bbaasi ya Link ekwatiddwa olw'okutikka akabindo

Bbaasi ya Link ekwatiddwa olw'okutikka akabindo

E Mubende dereeva wa kamunye bamukutte naye lwa kutikka kabindo waggulu..

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, ategeezezza nti si bakussa mukono okutuusa mukono okutuusa ng'empisa zikomyewo ku nguudo. 

Tags:
bikwekweto
Ibanda
Toyota Noah
Link
kabindo