Abantu 12 balumiziddwa mu kabenje akagudde e Ttamu e Mityana ku luguudo oludda e Mubende.
Kabaddemu emmotoka UG 709 M Hilux double cabin kabangali etomereganye ne Drone nnamba UBG 627 F omubadde abasaabaze.
Baddereeva bombi balumiziddwa n'abasaabaze ne batwalibwa mu ddwaliro e Mityana gye bafunira obujjanjabi.
(Abatuuze nga bakung'aanye okutaasa abaakoseddwa mu kabenje)
Abamu ku balumiziddwa ye Tawuni kiraaka w'e Mityana Godfrey Kateba 48 era nga y'abadde avuga kabangali, Richard Ssekandi 34 ow'e Kyegegwa era nga ye yabadde ddereeva wa drone .
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.