Amawulire

Drone eyambalaganye ne 'Double cabin' ku lw'e Mityana abantu 12 ne balumizibwa nnyo

Kabaddemu emmotoka UG 709 M Hilux double cabin kabangali etomereganye ne Drone nnamba UBG 627 F omubadde abasaabaze.

Drone eyambalaganye ne 'Double cabin' ku lw'e Mityana abantu 12 ne balumizibwa nnyo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 12 balumiziddwa mu kabenje akagudde e Ttamu e Mityana ku luguudo oludda e Mubende.

(Vidiyo eraga engeri akabenje gye kaagoyezza drone ne double cabin)

Kabaddemu emmotoka UG 709 M Hilux double cabin kabangali etomereganye ne Drone nnamba UBG 627 F omubadde abasaabaze.

Kabangali ebadde eva Kampala okudda e Mityana kyokka ddereeva bw'atuuse e Ttamu ne bamukubamu amataala n'awunga kwe kuyingirira drone ebadde edda e Kampala.

Baddereeva bombi balumiziddwa n'abasaabaze ne batwalibwa mu ddwaliro e Mityana gye bafunira obujjanjabi.

(Abatuuze nga bakung'aanye okutaasa abaakoseddwa mu kabenje)

Abamu ku balumiziddwa ye Tawuni kiraaka w'e Mityana Godfrey Kateba 48 era nga y'abadde avuga kabangali, Richard Ssekandi 34 ow'e  Kyegegwa era nga ye yabadde ddereeva wa drone .

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Kabenje
Ttamu
Mityana
Luguudo
Kufa
Kulumizibwa
Double cabin
Drone