Amawulire

Makanika gwe baatutte okugula mmotoka bamubbyeko obukadde 12 n'awunga

OMUTUUZE w' e Bweyogerere mu Wakiso nga makanika, akiguddeko, bwe bamulimbye okumuguza emmotoka mu bitundu by'e Busoga, ne bamunyagako obukadde bw'ensimbi obusoba mu 12 .

Makanika gwe baatutte okugula mmotoka bamubbyeko obukadde 12 n'awunga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUTUUZE w' e Bweyogerere mu Wakiso nga makanika, akiguddeko, bwe bamulimbye okumuguza emmotoka mu bitundu by'e Busoga, ne bamunyagako obukadde bw'ensimbi obusoba mu 12 .

Moses Lule 31, ow'e Kirinnya Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira mu Wakiso gwe basenzesenze okutuuka ku kyalo Mawundo - Mufuuwa mu Bulanga Town council e Luuka ne bamunyagako obukadde 12 n'emitwalo 20 awamu n'essimu ya Techno Spark 20, ne ATM Card .

Kigambibwa nti omusajja David Mutagubya, yamulimbye , okumutwala e Iganga bamuguze emmotoka, nti era bwe baatuuse mu kabuga k'e Bulanga n'amulimba nga bw'aliko banne be yeebuzaako abamanyi awatuufu awali emmotoka gye batunda.

Kigambibwa nti ababiri baatambulidde ku pikipiki okweyongerayo munda e Mawundo - Mufuuwa eggulo akawungeezi, era ng'eyo kigambibwa nti abantu abataano gye bamufumbiikirizza ne bamulumya ne bamunyagako ssente , essimu n'ebintu ebirala.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti, Lule ng'ayambibwako abatuuze wakati mu kukuba enduulu, baakutte Mutagubye ne pikipiki nnamba UAM 147B Bajaj kwe babadde batambulira era nga poliisi y'e Bulanga eri mu kunoonyereza.

Tags:
Amawulire
Kubba
Kuwunga
Makanika
Mmotoka