Amawulire

Ddereeva agambibwa okukoona abakozi ba NBS ku lw'e Ntebe atemeza mabega wa mitayimbwa

DDEREEVA w'emmotoka egambibwa okuvaako akabenje omwafiira abakozi b'ekitongole kya Next Media n'okulumya omulala omu, atemeza mabega wa mitayimbwa.

Ddereeva agambibwa okukoona abakozi ba NBS ku lw'e Ntebe atemeza mabega wa mitayimbwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

DDEREEVA w'emmotoka egambibwa okuvaako akabenje omwafiira abakozi b'ekitongole kya Next Media n'okulumya omulala omu, atemeza mabega wa mitayimbwa.

John Baptist Kigozi agambibwa okuba nga ye yali avuga mmotoka nnamba UAS 976 W kabangali eyatomeregana n'endala nnamba UA 779D E Toyota Alex omwali mutambulira abakozi ba Next Media okwali Badru Kasirye ne Isaac Ndamagye abaafirawo ate ye Brain Makona Ssemanda n'alumizibwa era ng'akyagenda mu maaso n'okufuna obujjanjabi.

Akabenje kaali kumpi ne Stabex, e Namulanda ku luguudo lw'e Ntebe ekiro era ng'okuva olwo kigambibwa nti ddereeva Kigozi yali yabula okutuusa lwe baamukutte.

Kigambibwa nti ono owa double cabin, yava ku ludda lwe, n'alumba emmotoka omwali abakozi ba Next Media n'ebagoya.

Tags:
Kukoona
Ntebe
Ddereeva
Mitayimbwa
Kukwata