ABAZIGU abatannamanyika, balumbye omusawo mu maka ge, ne bamutema omukono kumpi kwagala kugukutulako.
Kigambibwa nti abazigu, baasoose kukoona ddirisa okumpi ne w’asula ne bayiwa endabirwamu nti n'oluvannyuma ne bayingira era wakati mu kubba ebintu bye omuli n'essimu nga bwe bamukanda ssente, kwe kumutema omukono.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti , Nakasujja atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi, nga bwe bagenda mu maaso n'okuyigga abazigu bano.