POLIISI y’e Katwe ekoze ekikwekweto ku Muganzirwazza e Katwe n’ekwata abavubuka munaana abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa boda boda n’okuzitemamu sipeeya.
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa ekitongole kya poliisi ekikessi ekya Crime Intelligence nga baakulembeddwamu Wyclif Mujuzi.
Abaakwatiddwa kuliko; Nicholas Mwaje 25, omutuuze w’e Masajja B, Muzamir Businje 18, omutuuze we Masajja Kibira A, David Kandwanaho, Regan Ssekitto, David Mukisa, Erias Kayima, Derick Kiiza ne Umar Kafuma nga kigambibwa ti ono yabadde azigula
n’azitemamu sipeeya.
Bano bakuumirwa ku poliisi Katweng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Bano okukwatibwa kyaddiridde abantu ab’enjawulo abazze babbibwako boda boda zaabwe mu bitundu eby’enjawulo okwekubira enduulu ku poliisi y’e Katwe.
Mujuzi yategeezezza nti oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu mu bitundu nga Makindye Boston,
Salaama, Masajja, Namasuba n’awalala batandika okulondoola abavubuka bano okutuusa bwe baakutteko abamu abaalokomye bannaabwe okuli ne gwe baziguza. Yagambye nti
bano baakutwalibwa mu kkooti babitebye kyokka nga wakyaliwo akabinja akalala ke bakyanoonya