POLIISI e Mbale etandise okunoonyereza ku muyizi wa Islamic University In Uganda (IUIU) ow’omwaka ogusooka eyasangiddwa ng’afiiridde mu kayumba k’asulamu mu Kiduda Cell Namatala mu Mbale City.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon SP Rogers Tayitika yagambye nti omugenzi ye Dan Watyakala abadde ow’emyaka 24.
Tayitika agamba nti baafunye amawulire okuva ku muganda we Peter Namisi eyabadde agenze okumulaba n’asanga ng’oluggi luggule ng’omulambo gugangalamye ku kitanda. Poliisi yatandise okunoonyereza ekyavuddeko omugenzi okufa ku fayiro DEF
08/2026.
Omulambo gwaweereddwaabooluganda bakole ku by’okuziika nga bwe balindirira ekinaava mu lipoota y’omusawo wa poliisi.