SSEEKA UMAR eyamanyibwa ennyo ng’omukugu mu kulomba dduwa e Nansana asingisiddwa ogw’okukukusa omwana n’ekigendererwa ky’okumusobyako wabula kkooti n’emuyimbula!
Kkooti yasinzidde ku bujulizi bw’abantu 15 okusingisa Umar Muwonge amanyiddwa nga Sseeka Umar ow’e Nansana omusango, omulamuzi n’agamba nti obujulizi naddala obw’omwana tebuleetawo kubuusabuusa kwonna nti yazza omusango ng’ate tewali mulala ateeberezebwa wabula ye yekka.
Omulamuzi agambye, obujulizi bw’omwana tebuyinza kubusabuusibwa kubanga tewali nsonga lwaki yandiwaayirizza omuntu eyali amulabirira obulungi, n’asasula ffiizi ngera omwana yennyini bwe yali awa obujulizi yategeeza nti, buli kimu kyali kitambula bulungi okutuusa mu P.6 Sseeka Umar lwe yatandika okumupeeka akaboozi.
Omulamuzi agambye nti, Sseeka Umar okulemesa omwana okulabanga ku bazadde be n’okugaana okumuweerayo ssente nga bwe yali akola okuva emabega kiraga nti yali ayagala amukkirizise kye yali ayagala.
Kkooti yayongeddeko nti oludda oluwaabi lukakasizza nti Sseeka Umar yakozesa obuyinza bwe okukukusa omwana omuto n’ekigendererwa ky’okumukozesa mu bikolwa by’omukwano nga tanneetuuka.
Kyokka omulamuzi yagambye nti, Sseeka Umar yalina emikutu mingi mwe yali ayinza okuyita okukozesa omwana ono kyokka teyakikola noolwekyo asaana okuweebwa ekibonerezo ekisaamusaamu.
Omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha eyabadde mu musango guno yagambye nti, okuwa Sseeka Umar ekibonerezo ky’okusibwa mu kkomera kubeera kubonereza muwala we akyasoma.
Bw’atyo yalagidde Sseeka Umar ayimbulwe ng’ebbanga ery’emyaka ebiri, emyezi esatu n’ennaku 22 by’amaze ku limanda kkooti bye yamuwadde ng’ekibonerezo.
Sseeka Umar yakwatibwa mu November wa 2023. Omulamuzi yagenze okumalayo ensala ye nga Sseeka Umar amaziga eg’essanyu gamuyitamu era n’akka ku maviivi ne yeebaza omulamuzi okumukwatirwa ekisa