OKUWULIRA emisango gy’ebyobululu ku kyawuuba abakaka ,abawaaba balemeddeko okuwandukulula abalangirirwa.
Essiga eddamuzi lyassaawo emyezi ebiri okuwulira emisango gino era abalamuzi baalabulwa okusoosowaza ffayiro zino ng’abalamuzi bali ku kaweefube okulaba ng’ekiseera ekyabaweevwa kiggwaako nga bamaze okuwa ensala zaabwe.
KIWANUKA ASABYE OBUDDE OKWANUKULA KIBUULE
Omulamuzi Godfrey Himbaza yawadde olwa September 21 okuwulira ogwa Ronald Kibuule (NRM) ng’awakanaya obuwanguzi bwa Abudallah Kiwanuka Mulimamayuuni. Kiwanuka ng’akulembeddwa Chrizestom Katumba owa Lukwago and Company Advocates yasabye kkooti ebongereyo obudde batereeze mu kwewozaako kwabwe.
Bannamateeka ba Kibuule, Frank Kandhiho ne Ian Bwowe basoose kutegeeza kkooti nti oludda oluwaawabirwa terwagoberera mateeka ga bya kulonda nga bawaayo okwewozaako kwabwe.
OKUWULIRA OBUJULIZI MU GW’E BBAALE - OBUTAMBI BUGOBEDDWA
Omulamuzi Mwaka yagobye obumu ku butambi bw’essimu obwaleetedda mu musango Arthur Kiiza NRM gwe yawaabira omubaka wa Bbaale constituency Charles Tebandeke owa NUP. Mwaka yagambye nti, obutambi buno omukaaga, nga busatu bwagyiddwa ku Tiktok tasobola kwesiga kigendererwa ekituufu ekya nnannyini ssimu eyabukwata era kkooti eyinza okukaluubirirwa okumanya ensibuko yaabwo.
Kiiza yawaabira Tebandeke ng’amulumiriza okumwonoonera erinnya bwe yali asaggula akalulu, ekyamusuula mu kalulu.
EBIWANDIIKO BYA KIYIMBA BITWALIDDWA MU BAKUGU
Hajji Abdul Kiyimba awakanya obuwanguzi bwa Emmanuel Magoola ku bubaka bwa Busiro East era ayagala aveeyo mu Palamenti.
Kiyimba agamba, alina ffoomu ezikakasa nti ye yawangula kyokka Magoola akalamabidde nti ebiwandiiko bya Kiyimba si bya mazima. Omulamuzi George Okello yagambye agenda kusindika ebiwandiiko ebyaleeteddwa Kiyimba eri omukugu wa poliisi abyekenneenye.
GEORGE MUSISI ATTUNKA NE KANANURA
Kkooti era yatandise okuwulira ogwa munnamateeka George MuSseeka
Umar asingisiddwa omusango
sisi gwe baamuwaabira nga bawakanya obuwanguzi bwe ku ky’omubaka wa munisipaali wa Kira.
Kananura yateekayo okusaba ng’ayagala ebyava mu kalulu kano bisazibwemu ng’alumiriza ebitongole by’okwerinda okutiisatiisa abalonzi. Wabula Musisi ng’ayita mu puliida we Luyimbaazi Nalukoola, baasabye kkooti omusango egugobe nga balumiriza Kananura okuteekayo omusango ng’obudde buyise. Nabo baali wa mulamuzi George Okello.
BAYISE AKULIRA EBYOKULONDA E MUKONO MU GWA MUYANJA NE LUKOOYA Emily Amongin eyali avunaanyizibwa ku byokulonda ebiseera ebyo, bamuyise annyonnyole kkooti omutuufu eyawangula ekifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono.
Omulamuzi Phillip Mwaka yategeezezza nti, Amongin ajja kuwa ekifaananyi ekituufu, kkooti kw’eneesinziira okuwa ensala yaayo ssaako okwenneenya obumu ku butambi bw’obujulizi obulumika omuwawaabirwa ku byaliwo nga 23 January, 2026 lwe baalangirira omuwanguzi kubanga mu butambi awulirwa ng’alangirira Ssenyonga ate oluvannyuma n’alangirira Lukooya. Ssenyonga NUP yawawaabira Lukooya Mukoome NRM ng’awakanya obuwanguzi bwe.
KYEYUNE BAMWESIMBYEMU BABIRI OKUMUSUUZA WAKISO
Najja Nasif awakanya obuwanguzi bwa Ying. Ian Kyeyune ku kya ssentebe wa disitukiti y’e Wakiso. Najja akiikirirwa munnamateeka Kenneth Paul Kakande, eyasabye kkooti esaazemu obuwanguzi bwa Kyeyune, Najja alangirirwe ku kifo ekyo.
Najja agamba nti ebyava mu kulonda mu bitundu ebimu mu Kira ne Kyaddondo East tebyagattibwa, ekikakasa nti mwalimu okubba obululu. Kyeyune era avunaanibwa omulonzi Farouk Lule ayagala kkooti erangirire nti akakiiko k’ebyokulonda tekaagoberera mateeka nga bamusunsula