Amawulire

Muyambe abaana abatalina mwasirizi - Kiryowa Kiwanuka

MINISITA w’ebyokwerinda, Kiryowa Kiwanuka asoomoozezza Bannayuganda okuyamba abaana abatalina mwasirizi kibayambe nabo okufuuka aboomugaso eri eggwanga.

Minisita Kiryowa ng’akulembeddemu banne okusala kkeeki n’abaana abalabirirwa ku UWESO e Masuuliita.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITA w’ebyokwerinda, Kiryowa Kiwanuka asoomoozezza Bannayuganda okuyamba abaana abatalina mwasirizi kibayambe nabo okufuuka aboomugaso eri eggwanga.
Yabyogeredde ku kifo ekirabirira abaana ekya UWESO e Masuuliita mu Wakiso, kkampuni ya bannamateeka eya K&K Advocates bwe yabadde ejaguza emyaka 25 ng’eweereza.

Minisita Kiwanuka yagambye nti, Bayibuli ekyogera bulungi mu Zabbuli 127 era buli ayamba omwana, aba atadde ettoffaali ku ggwanga.
“Twasazeewo okujaguza emyaka 25 n’abaana ku UWESO nga tujaguliza wamu ne maama Janet Museveni eyafuna okwolesebwa emyaka 40 n’atandikawo ekifo kino okulabirira abaana enfuuzi, abasuuliddwaawo n’abataliiko mwasirizi,” Bwe yayongeddeko.
Kiwanuka era yategeezezza nti omulamwa gwabwe si kukola ku nsonga z’amateeka zokka, wabula bafaayo okuyamba abalina obwetaavu naddala mu byalo.
Edwin Karugire yategeezezza nti, ng’oggyeeko amateeka, babadde batunuulira nnyo okubuulirira, okulung’amya n’okubangula bannamateeka ku ngeri gye balina okweyisaamu.
Yagambye nti, baasazeewo okujaguza n’abaana ku UWESO basobole okubaako obuyambi bwe babawa nga ekijjukizo. Karugire yayongeddeko nti, bakung’aanya abaana abadduka awaka ne bababuulirira era bangi babakozeemu omulimu ne baddayo awaka era baafuuka ba buvunaanyizibwa gye babazaala.
K&K ng’ejaguza emyaka 25, yakoledde aba UWESO effumbiro ggaggadde lya byoto 3, okukendeeza ku nku ezikosebwa mu kufumba. Karugire yagambye, babadde bagula mmotoka z’enku ennene 2 ku 3 buli wiiki ekibadde kibakosa mu nsawo n’agamba babadde basaasaanya obukadde 120 buli mwaka ku nku.
Olive Lumonya nga ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa UWESO, yeebazizza kkampuni ya K&K olw’okubadduukirira n’effumbiro ery’omulembe lye yagambye nti ligenda kukendeeza ku budde bwe bamala nga bafumbira abaana.
Lumonya yategeezezza nti balina abaana 400 mu UWESO nga baggyibwa ku nguudo era bababangudde ne bafuuka baamugaso. Yagambye, omwaka guno abaana 360 babazzizzaayo mu maka gaabwe nga 80 ku 100 baava Karamoja

Tags: