OMUSUUBUZI w’ente omututumufu mu Mbarara, Herbert Turyatunga, eyattiddwa ne mukazi we Jane Nakyanzi akwasizza batabani be ne mukyala we nnamba bbiri bayambeko poliisi mu kunoonyereza.
Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kafunjo I mu Mbarara South Division, mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Mmande nga September 21, 2026. Poliisi yakutte batabani b’omugenzi babiri, abazaalibwa mukyala we nnamba bbiri Jane Kyobutungi kw’ossa Kyobutungi yennyini n’ebaggalira ng’ebateebereza okubaako ne kye bamanyi ku ttemu lino.
Okusinziira ku ssentebe wa NRM mu kitundu kino, Aaron Ikara, era nga y’omu ku bakulembeze b’abavuzi ba ttakisi mu Mbarara, Turyatunga abadde musuubuzi wa nte ow’amaanyi mu Mbarara era ettemu mwe yafiiridde liteeberezebwa okuba nga lyabaddewo ku ssaawa nga nnya ez’ekiro.
Kigambibwa nti abatemu baasoose kutta mukazi, ne beekweka mu nnyumba, Turyatunga bwe yakomyewo ekiro naye ne bamuvumbagira ne bamutta. Abadduukirize we baatuukidde, ng’abatemu badduse dda nga n’ebissi bye baakozesezza baagenze nabyo.
Mmeeya wa Mbarara South, Kyabwisho Gumisiriza yalaze okunyolwa olw’abantu ab’omutima omubi abatemula bannaabwe, n’asaba poliisi enoonyereze etuuke ku kituufu era abatemu bakwatibwe