Amawulire

LOODI MMEEYA Ying. Ronald Balimwezo atandise okuluma!

LOODI MMEEYA Ying. Ronald Balimwezo atandise okuluma!Asanze Abachina abakola oluguudo lw’e Salaama e Makindye mu Kampala ng’omwala bagukoze gadibengalye ne yeecwacwana n'azimbulula bye babadde bakubiridde n'abalagira babiddemu!

Loodi Mmeeya Balimwezo (ku ddyo) ng’atabukidde omu ku Bachina abakola oluguudo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LOODI MMEEYA Ying. Ronald Balimwezo atandise okuluma!
Asanze Abachina abakola oluguudo lw’e Salaama e Makindye mu Kampala ng’omwala bagukoze gadibengalye ne yeecwacwana n'azimbulula bye babadde bakubiridde n'abalagira babiddemu!

Balimwezo okugenda e Salaama kyaddiridde abatuuze okwekubira enduulu nga beemulugunya ku Bachina aba kkampuni ya China Railway 18th Group eyakwasibwa ogw’okukola ekkubo lino nga bagamba nti omwala bamaze gakubirira ekiyinza okubaviirako amataba okubakuba n’okwonoona oluguudo.
Mu kulambula omwala guno, Balimwezo yatabukidde omu ku Bachina eyasangiddwaawo n’amusoya kajojijoji w’ebibuuzo. “Enguudo n’emyala ewammwe e China mumala gakola?” Balimwezo bwe yabuuzizza.
Okumanya yataamye, bwe yakizudde nti omwala gwabadde gussiddwaamu obugoma butono obutasobola kutambuza mazzi, agava mu bitundu by’e Salaama, Omuchina ono yagezezzaako okumumatiza nti amazzi gajja kutambula, nga buteerere.
Balimwezo yalayidde nti ye nga yinginiya omutendeke eyalondebwa okukulembera Kampala, tajja kutunula butunuzi nga bakontulakita bamala gakola mirimu era yamenyeemenye ebimu ku bisementi bye yagambye nti byabadde bizimbiddwa mu ngeri ya kibogwe.
Yabalagidde okumenya byonna bye baabadde bakoze baddemu bazimbe bulungi omwala nga kontulakiti bw’egamba. Baamwetondedde era ne baddamu okuguzimba ekyasanyudde abatuuze.
Balimwezo yasinzidde Salaama n’akunga Bannakampala okulonkoma bakontulakita abakola emirimu gadibengalye abasseeko akazito batereeze bye bakola mu budde baleme kuzannyira mu ssente za muwi wa musolo.
Mu ngeri ey’enjawulo, abatuuze b’e Salaama basiimye Balimwezo okubagambira ku Bachina ne bagamba nti emitima gibadde gibeewanise olw’amataba agayinza okubakuba olw’engeri omwala gye gwabadde gukoleddwaamu etematiza.
Oluvannyuma abatuuze baatutte Balimwezo ku mwala ogusangibwa ku mugga Mayanja Road e Salaama gwe baagambye nti gufuuse akattiro mu kitundu kyabwe ne bamusaba abataase waakiri gubikkibweko nga bagamba nti emmotoka, bodaboda n’abantu bagwamu entakera.
Abakulembeze b’e Makindye okwabadde Dr. Judith Nalukwago n’abalala, baategeezezza Balimwezo nti babaddenga boogera naye nga bakontulakita abamu tebabawuliriza ne bamusiima olw’okuvaayo n’amaanyi okubalwanirira.

Tags: