Amawulire

Batongozza kaweefube okubangula abakola ku masundiro g'amafuta

Batongozza kaweefube okubangula abakola ku masundiro g'amafuta

Omumyuka w'akulira Vivo Energy mu buvanjuba bwa Afrika Hans Paulsen , Joanita Menya wamu n'abakozi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAKULIRA amasundiro g'amafuta mu ggwanga batongozza kaweefube ow'okwongera okubangula abakozi ku masundiro gaabwe gonna okwetoloola eggwanga n'ekigendererwa eky'okwongere okutereeza mu mpeereza .

 

Kaweefube ono akulembeddwaamu aba kkampuni ya Vivo Energy Uganda era nga ne bamakanika b'amamotoka ku masundiro tebalekeddwa bbali, kibayambeko okwongera ku bumanyirivu mu mulimu gwabwe.

 

Enteekateeka eno etuumiddwa "Learning on Wheels" nga yatongozedwa e Lugogo mu Kampala .

 

Akulira Vivo Energy Uganda Joanita Mukasa Menya bwe yabadde ayogerako eri abantu

Akulira Vivo Energy Uganda Joanita Mukasa Menya bwe yabadde ayogerako eri abantu

 

Omumyuka w'akulira Vivo Energy Uganda mu buvanjuba bwa Afrika, Hans Paulsen, eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno yategeezeza nti okutendeka abakozi kyekimu   ku bintu ebikulu ebiyamba okukuuma omutindo gw’obuweereza eri abagoba ab'ebidduka abanywa amafuta .

 

Akulira Vivo Energy Uganda, Joanita Mukasa Menya, mumativu nti enteekateeka eno, ng'oggyeeko okuwa abakozi obukugu yaakuyamba nnyo okutuusa obuweereza obwesigika eri bannansi.

Tags: