Amawulire

Sipiika atandise enkola y'okusoma amannya ga baminisita ababeera mu ntuula za Palamenti

SIPIIKA wa palamenti Jacob Oboth aguddewo enkola esoma amannya ga ba minisita ababeera beetabye mu ntuula za palamenti bakira gwasoma yayimuka okukakasa okubeerawo kwe. 

Sipiika Jacob Oboth Oboth
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

SIPIIKA wa palamenti Jacob Oboth aguddewo enkola esoma amannya ga ba minisita ababeera beetabye mu ntuula za palamenti bakira gwasoma yayimuka okukakasa okubeerawo kwe.

Kiddiridde ababaka mu lutuula lw’eggulo ku Lwokubiri  okwemulugunya ku kya ba minisita bano okwebulankanya nga kyonna ekyabadde kibetaagisa okwanukula kyabadde kiddibwamu minisita omubeezi ow’ebyamakolero David Bahati.

Kino ababaka bategeezezza nti si kituufu Bahati okwanukula buli kimu so nga ba minisita abakwatibwako webali era baloondebwa.

Abamu ku baminisita nga bali mu palamenti

Abamu ku baminisita nga bali mu palamenti

Yasomye amannya g’aba minisita ababaddewo era abatera okujjumbira entuula za palamenti nabasiima olw’okussa ekitiibwa mu palamenti.

Kwabaddeko omumyuka wa ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi, minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza n’emizannyo Peter Ogwang, minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti, Lydia Wanyoto, Minisita avunaanyizibwa ku bye ttaka , Judith Nabakooba, minisita omubeezi ow’ebyentambula Julius Maganda Wandera, minisita omubeezi ow’ebyobujjanjabi ebisookerwako Margret Muhanga ne Minisita Bahati.

Mu kugulawo olutuula lwa leero, sipiika Oboth agambye nti terulikya lunnaku natandika okubirizza ba minisita okujjumbira entuula za palamenti nga buvunaanyizibwa bwa babaka okulaba nga babeerawo okwanukula ku nsonga ezinyigiriza ebitundu byabwe.

Ababaka bwe bazzeemu okwemulugunya ku ba minisita abataliiwo kwekunokolayo amannya g’abaliwo era obwedda gwasoma yasituka ng’eno ababaka bwe babasa ebibbo by’enseko.

Minisita Kiryowa Kiwanuka ng'attaanya ensonga

Minisita Kiryowa Kiwanuka ng'attaanya ensonga

Atandikidde ku Jonard Asiimwe owa ssayansi ne tekinologiya, minisita avunaanyizibwa ku by’okwerinda mu ggwanga  Kiryowa Kiwanuka, katikkiro wa Uganda ow’okusatu Rukia Nakadama, ne minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga, Haruna Kasolo Kyeyune.

Bano abalabiseeko leero , enkola ya sipiika empya ey’okutandika okumenya amannya gabaliwo erabika nga yebagugumudde wadde nga tebalemye kwewozaako nga bwe baabaddeko emirimu emitongole gyebakola.

Mu kwanukula sipiika abategeezezza nti basaanye okukimanya nti n’okwetaba mu ntuula za palamenti  ba beera ku mirimu mitongole .

Mu kukubiriza olutuula lwe ggulo yasabye omukulembeze w’eggwanga bwaba akola ekyukakyuka mu ba minisita be okwebuuza ku palamenti okusobola okusemba abo abajjumbira entuula zaayo.

Tags: