OLUKIIKO oluteekateeka Amatikkira g’Omukama omuggya, Edward Rukidi Kijanangoma Nyabongo I, lutegeezezza nti obukadde bw’ensimbi 925 bwe bwetaagibwa okuteekateeka omukolo guno ogunaabeerawo nga September 29, 2026.
Bwe yabadde awayaamu n’olupapula lwa Bukedde, ssentebe w’olukiiko oluteekateeka Amatikkira g’Omukama, Musenyooli Isaiah Mayombo, yategeezezza nti enteekateeka zitambula bulungi era balina essuubi nti ensimbi zino zaakufunibwa.
Alex Ruhunda, akulira ebyensimbi ku lukiiko luno, yategeezezza nti akawunti yagguddwaawo mu Centenary Bank abantu kwe banaateeka ssente z’omukolo guno. Ruhunda yagasseeko nti, abantu basobola n’okuwaayo nga beeyambisa enkola ya Mobile Money.
Richard Rwabuhinga, mmemba ku lukiiko luno, yagambye nti Pulezidenti Yoweri Museveni asuubirwa okwetaba ku mukolo guno nga omugenyi omukulu n’agattako nti bayise abakulembeze b’ennono ab’enjawulo mu Uganda n’ebweru, bannabyabufuzi, abeebyenfuna n’abalala.
Okusinziira ku Musenyooli Mayombo, obulombolombo bw’Amatikkira bwakutandika ekiro kya September 28, Omukama omupya ng’ava mu lubiri e Rwengoma ayolekere mu lw’e Karuziika ng’ayita mu Wankaaki wa Mugabante; omulyango omukulu ogw’olubiri luno.
Mayombo agamba nti, Omukama waakwenyigira mu lutalo olw’obuwangwa ku Wankaaki w’olubiri, era bw’anaamaliriza okuluwangula, olwo ayingire olubiri atuule ku ntebe y’Obukama.
Obulombolombo obulala bujja kukolebwa munda mu lubiri, omuli okuvuunula eng’oma ezaali zivuunikiddwa nga Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV afudde.
Nga Septemmber 29, 2026 emikolo gy’okutikkira giritandika n’okusaba ku Lutikko ya St. John’s esangibwa mu kibuga Fort Portal, n’oluvannyuma okutikkira kuddeko mu lubiri e Karuziika.
Kijanangoma Nyabongo yalondebwa olulyo lw’Ababiito okudda mu bigere by’omugenzi Oyo eyafa omwezi oguwedde ku myaka 34.