Amawulire

Madaada ne Bobi Young boogedde embeera eri mu kkomera

ABAWAGIZI ba NUP, Sauda Madaada ne Anthony Agaba amanyiddwa nga ‘Bobi Young’ bayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira ne balojja embeera gye baleseemu bannaabwe abaasigaddeyo.

Madaada ne Rubongoya, Bobi Young
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAWAGIZI ba NUP, Sauda Madaada ne Anthony Agaba amanyiddwa nga ‘Bobi Young’ bayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira ne balojja embeera gye baleseemu bannaabwe abaasigaddeyo.
Madaada yayimbuddwa ku Lwomukaaga ate ye Bobi Young abadde avunaanibwa mu kkooti y'amagye yayimbulwa ku Lwokuna nga September 17, 2026 nga bano batuukidde ku kitebe kya NUP e Kavule gye baaniriziddwa ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, abeng’anda ne bannakibiina abalala.

Madaada okuva e Luzira yatambulidde mu mmotoka ekikya kya drone mwe yabadde ne nnyina n’abooluganda abalala. Yalombozze engeri gye yakwatibwamu nga September 9, 2025 n’embeera gy’ayiseemu mu kkomera gy’amaze omwaka mulamba n’ennaku mwenda.
Yategeezezza nti baamukwatira ku nsalo ya Uganda ne Kenya bwe yali agenda ku mirimu emitongole, ng’eyamukwata yamuggya mu layini mwe beekenneenyeza ebiwandiiko by’abayingira n'okufuluma eggwanga.
Yasooka kulowooza nti omusajja ono ayagala kumuwonya kusimba layini kyokka yamutuusiza mu kasenge oluvannyuma n’akwata essimu n’abaako be yakubira nga n’ekyaddirira kwali kumuzza Kampala.
Madaada agamba nti, okuva ku nsalo e Busia baamutuusiza ku poliisi ya Kira Road gye yasanga omumyuka w’omwogezi w’ekibiina kya NUP, Alex Waiswa Mufumbiro gwe baamutwala naye mu kkooti e Kanyanya ne babasomera emisango egyekuusa ku kukola dduyiro w’ekinnamagye ssaako okusangibwa n’ebyambalo ebyefaanaanyiriza eby’amagye.
Bano emisango baagyegaana ne basindikibwa mu kkomera e Luzira. Yanyumizza nti ayise mu bulumi obw’enjawulo mu kkomera gy’abadde obwamuwaliriza n’okukkiriza omusango gw’atazza.
“Bannange ndi musanyufu nnyo okulaba nga nfulumye, embeera y’ekkomera teba nnyangu ebisoomooza bibeera bingi ekkomera ne bw’olimalamu ennaku bbiri, kasita liba kkomera oba ng’amazeeyo emyaka 10. Twebaza abantu bonna abatulambudde n’abatubeereddewo naddala Rubongoya n’akulira oludda oluwabula Gavumenti, Joel Ssenyonyi ssaako pulezidenti wange Bobi Wine. Nkusuubiza nti tugenda kutambulira wamu naawe,’’ Madaada bwe yagambye.
MADAADA NE BANNE ENGERI
GYE BAKKIRIZAAMU OMUSANGO
Oluvannyuma lw’okumala ebbanga mu kkomera ng’oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujulizi mu kkooti ku Madaada ne banne abalala 11, bakkiriza okugenda mu nteeseganya n’oludda oluwaabi okukkiriza emisango egibavunaanibwa basobole okubasalira ku kibonerezo olw’obutamalira kkooti budde kugenda mu maaso na kuwulira misango.
Madaada abadde avunaanibwa n’abalala 20, nga 12 ku bano bakkirizza okugenda mu nteeseganya n’oludda oluwaabi era nga ffayiro y’emisango gyabwe yakwasibwa akulira kkooti y’e Kanyanya omulamuzi Doreen Ainembabazi, eyabasalira ekibonerezo ekiri wakati w’emyezi 10 ne 13.
Abamu ku bakkiriza emisango gino kuliko; Olivia Lutaaya emyezi 13 nga July 8, 2026 kkooti n’emutoolerako ebbanga lya myezi munaana gye yali amaze ku alimanda, Ashiraf Denis Kyobe amanyiddwa nga ‘Kadonya’ baamusiba emyezi 11, Robert Zziwa gwe baamusalira emyezi 10 ng’ono asuubirwa okuyimbulwa mu October.
Abalala abakkiriza emisango era abalindiridde okuyimbulwa kuliko; Edwin Sserunkuuma amanyiddwa nga Eddy King Kabejja, Yasin Ssengo amanyiddwa nga Amin, Farouk Baluku, Richard Muwonge amanyiddwa nga ‘Gen. Kufa Kufa’, Denis Ssemata amanyiddwa nga ‘Gen. Hip Man’, Majid Kabenge ne Paul Kato.
Abaayimbuddwa ne Madaada kuliko; Sharif Lukenge ne Tonny Kaweesi.
RUBONGOYA AKUKKULUMIDDE
GAVUMENTI OLW’OKUSIBIRA
ABANTU BAABWE OBWEREERE
Rubongoya bwe yabadde ayaniriza Madaada ku Lwomukaaga e Kavule yategeezezza nti abadde mu kkomera omwaka gumu n’ennaku mwenda, ku misango gy’atazza ne banne abalala abakkiriza emisango gino okuli ne Olivia Lutaaya asuubirwa okuyimbulwa omwezi ogujja.
Kyokka yalaze obulumi olwa bannakibiina okuli eyali akulira ettendekero lya NUP ery’ebyobufuzi Doreen Kaija, Alex Waiswa Mufumbiro, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga ‘Eddie Mutwe’, Calvin Tasi amanyiddwa nga ‘Bobi Giant’, Achilleo Kivumbi n’abalala abakyali mu nkomyo.
BOBI YOUNG NAYE YAYIMBUDDWA
Athony Agaba amanyiddwa nga ‘Bobi Young’ yeegasse ku ba NUP abazze bayimbulwa kkooti y’amagye ku misango egy’enjawulo; okuli Yasin Machette, Hamza Andama, Ratib Buga, Siragi Angulibo ne Kassim Idda abaayimbulwa kkooti y’amagye oluvannyuma lw’okukkiriza emisango ne basonyiyibwa.
Bobi Young yasooka kukwatibwa nga May 23, 2024, n’ayimbulwa kyokka n’addamu okukwatibwa oluvannyuma lw’emyezi etaano ku misango egyekuusa ku kusangibwa n’ebigambibwa okuba ebintu by’amagye. Agamba oluvannyuma lw’okuwabulwa munnamateeka we omulala gwe yafuna, yamuwa amagezi okukkiriza emisango egyali gimuvunaanibwa egy’okusangibwa n’ennyota ezeefaanaanyiriza ez’amagye n’ebyambalo.
Bobi Young agamba nti oluvannyuma lw’ensala ya kkooti ensukkulumu okuyimiriza kkooti y’amagye okuvunaana abantu ba bulijjo, yatandika okwebuuza ekigenda mu maaso kwe kufuna okuwabulwa okuva ewa munnamateeka omu eyamugamba akkirize emisango era asabe ekisonyiwo, naye kye yakola.
Agamba nti balooya be baali bamaze ebbanga nga bamusabira okweyimirwa mu kkooti zonna naye ng’omulamuzi Emmanuel Baguma abategeeza nga bw’atalina ffayiro ye. Yannyonnyodde nti ekimu ku bibuuzo bye baamubuuza nga yaakakwatibwa y’enkolagana ye ne Kyagulanyi n’enteekateeka ze balina okutwala obuyinza.
Oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kkooti y’amagye, agamba nti baamusidika e Luzira era n’asaba okuteekebwa mu basibe aba bulijjo kye baakola ng’eno Eddie Mutwe, Mufumbiro n’abalala gye baamusanga.
Alumiriza abalamuzi abakandaaliriza okuwulira emisango nga be bavunaanyizibwa ku mujjuzo oguli mu makomera era yafundikidde asaba ssaabawolereza wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja okukola omulimu gwe mu bwesimbu kuba Bannayuganda bamulinamu essuubi.
Yeebazizza abantu bonna abamubeereddewo mu kiseera ky’amaze mu busibe era ne yeeyama okusigala ng’akyawagira NUP.
Olivia Lutaaya akyali mu kkomera.
Bobi Young
Madaada ne Rubongoya

Tags: