OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Banja akuutidde abafumbo, okugoberera ebirayiro bye bakubye nga bagattibwa mu Kkanisa basobole okuwangaaza obufumbo bwabwe.
Bino Bp. Banja yabyogedde agatta emigogo gy’abagole 58 mu bufumbo obutukuvu mu nkola y'ekikungo ku lutikko y’Omutukuvu Paul e Namirembe n’akuutira abaagattiddwa okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abaana baabwe kuba ennyonyi enkulu y’eyigiriza
ento okubuuka.
Era yakubirizza abatannaba kugattibwa, okusooka okwetegerezaabo be bagenda okukola nabo obufumbo naddala mu nneeyisa n’eddiini. Yasabyeabafumbo okukulembeza eddiini n’okwettanira emirimu gya Kkanisa.
Mukyala w’omulabirizi, Olivia Nassaka Banja yawadde abatannafumbirwa essuubi n’ategeeza nti naye yabufunira ku myaka 7 n’abakubiriza obutapapa ssaako okwetegereza abo be banaakola nabo obufumbo. Yasibidde abafumbo entanda nti amaka gaabwe gateekeddwa okubeera ekkanisa, mwe basinziira okubuulira enjiri ya Katonda. Ddiini wa Lutikko, Rev. Canon Dunstan Kiwanuka Mazinga yategeezezza nti, baawandiisa emigogo 60 wabula 58 be baagattiddwa. Yagambye enteekateeka eno yaakubaawo buli mwaka n’akubiriza abayaayanira obufumbo obutukuvu okwewandiisa babwefunira
omwaka ogujja. Abamu ku baagattiddwa baasembezza abagenyi baabwe mu bimuli
bya Lutikko abalala mu maka gaabwe n’ebitundu ebirala.