KYIV/ MOSCOW,
PULEZIDENTI wa Ukraine, Volodymyr Oleksandrovych Zelenskyy alabirizza mukulu
munne owa Russia Vladimir Putin ng’ebirowoozo bye abimalidde mu kalulu k’ababaka ba Palamenti n’alyoka anyugunya mizayiro ez’okumukumu ku kibuga Moscow kumpi kyonna ne kituntumuka omuliro. Mu lulumba luno olutabangawo bukya lutalo lutandika nga February 24, 2022, Ukraine yakubye mizayiro kumpi 500 ku kibuga Moscow.
Putin yabadde tannayogera kantu konna nga kirowoozebwa nti, yafunye ekyekango.
Mmeeya wa Moscow, Sergey Sobyanin yagambye nti, olwo lwe lukuba olukyasinze okubeera olw’amaanyi bukya lutalo luno lutandika emyaka ena egiyise. Mizayiro za Ukraine ekika kya Flamingo n’ebika by’ennyonyi za drone eby’enjawulo, byakubye ebizimbe by’abantu baabulijjo mu kibuga ekikulu Moscow, enzizi z’amafuta n’ebirala ebyatuntumuse ekibuga ne kikwata erikka eriddugavu n’omweru nga byetabise.
Okusinziira ku mawulire ga The Guardian, abantu basatu be baasoose okufiirawo mu lumu ku nzizi z’amafuta ezaakubiddwa abalala bangi ne
bagenda n’ebisago.
Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelenskyy yeewaanye nti, Russia yabadde mu kulonda ku lunaku lwayo olusemba nga ne Putin alaba ebintu bigenda bulungi, yeekanze bamukubidd ebimu ku bintu ebisinga obukulu mu kibuga n’agwaawo ekigwo.
Okulonda okwogerwako kwabadde kwa babaka ba Palamenti nga n’ebitundu Russia bye
yawamba ku Ukraine, abaayo nabo baalonze ababaka kubanga Putin abitwala nga bitundu bya ggwanga lye.
Zelenskyy yagambye nti, eky’okulwanyisa ekirala ekyakozeseddwa ye mizayiro ekika kya Pelican.
Waliwo abaali balowooza nti, eyo si mizayiro wabula drone, beekangidde mu nkozesa yaayo nga mizayiro nnamba ate ekuba ewala so si kumpi nga bwe baasooka okulowooza.
Ukraine bulijjo terina mizayiro esobola kukuba butereevu mu Russia, wabula omukugu Ruslan Leviev, ow’ekitongole kya Conflict Intelligence Team, agamba nti, ebipapajjo bya mizayiro ebyalabiddwaako mu Moscow, bya mizayiro kika kya Flamingo ekyali empya.
Okulonda mu Russia, kwabadde kwa babaka ng’abaasinze baalonze babaka abali mu kibiina kya Putin ekya United Russia party, nga kino kigenda kunywereza ddala entebe ye gy’amazeeko emyaka 26.
Abakulu mu Russia baatadde obubaka ku mukutu gwa Telegram nga bagamba nti, Ukraine n’abawagizi baayo mu Bulaaya, baabadde baagala kulemesa
kulonda mu Russia. Emu ku mizayiro yakubye ekizimbe kya myaliiro 21, ekyawalirizza abakulira ekibuga, okusengula abantu 400 abaabadde bakisulamu okubazza awalala.