OMUKAMBWE wa Iran, Ayatollah Mojtaba Khamenei, alaalise okuggyayo emmundu ey’ebyewuunyo akubye banywanyi ba Amerika abali mu nsi ba Buwarabu 10 ssinga Trump akola ensobi n’addamu okubakolako olulumba lwonna.
Okulabula kwa Ayatollah kuno kwaddiridde Trump okuwa Iran nsalessale ekole mangu ddiiru eve mu lutalo, oba si kyo Amerika egenda kugitulisa yonna eve ku maapu nayo n’emutabukira.
Wabula Ayatollah Mojtaba, yasinzidde mu kifo ekyekusifu gye yeekukumye bukya alondebwa mu March 8, 2026 n’atuma akakiiko k’amagye g’eggwanga lye, ne kategeeza bwe ligenda okukuba enfo za America ekakase bw’eba tekakasanga mu lutalo lwe bamazeemu emyezi egigenda mu musanvu.
Akakiiko k’eggye lya Iran aka Military Central Command akafuga eggye lya Islamic Revolutionary Guard Corps (IRGC), kaalabudde America bwe bagenda okugikuba
awabi, singa ebakuba nga Pulezidenti waabwe bwe yalabudde.
Kaategeezezza nti, beetegefu nnyo okusinziira ku mawulire ga Reuters, okwesasuza mu ngeri egenda okukanga America.
Iran yawadde n’obukwakkulizo obulala nti, okuva mu lutalo, America erina kusooka kugiggyako nvumbo gye yateeka ku myalo gyayo obutatunda mafuta, okugiggyako natti z’ebyobusuubuzi, okuggya natti ku by’obugagga bye yasannyalaliza mu mawanga ag’enjawulo, okulangirira bw’eteriddamu kugirumba (Iran), okuleka bamasinale bonna
abakolagana ne Iran obutaddamu ubakoonako (nga bw’olaba aba
Houthi), okukoma ku banywanyi ba America mu Buwalabu (omuli ne Yisirayiri) obutaddamu kucocca Iran.
TRUMP YEESWANTA
Pulezidenti Donald Trump yakozesezza ebigambo, ‘Blowing up,’ ebitegeeza okutulisa ekintu ne kibengeya. Mu kino, yabadde agamba bw’agenda okukuba Iran mu lukuba olugenda okugisaanyaawo obusaanya.
Yabadde ayogera ne bannamawulire ba Fox News mu America, Trump n’agamba nti, okuggyako Iran ng’ekkirizza okuteesa n’ekola ddiiru ne America okuva mu lutalo (ng’ewaddeyo nyukiriya, okuggula akagolomolo n’ebirala by’ekola okutabangula ensi),
agenda kugisaanyawo ensi egyerabire.
Yagambye nti, obudde Iran esigazza butono ddala okusalawo. Yagambye nti, bw’atagikuba kugisaanyawo, agenda kuvunza ebyenfuna byayo nga bwe yakitandika edda, ng’aggala emyalo gya Iran, era ng’omukisa gwe balina gwa kuteesa gwokka. Bino yabyogedde ne Pulezidenti wa Iran, Masoud Pezeshkian asuubirwa okukyalako mu kibuga New York okwetaba mu lukiiko lw’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekya United Nations (UN), wiiki eno era Trump n’asuubiza nti, asobola okumusisinkana bwe kiba kisobose.