Amawulire

Omuyizi wa yunivasite e Mbale, asangiddwa mu kazigo k'abadde apangisa ng'afudde.

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku muyizi wa yunivasite ya IUIU e Mbale, asangiddwa mu kazigo k'abadde apangisa ng'afudde. 

Omuyizi wa yunivasite e Mbale, asangiddwa mu kazigo k'abadde apangisa ng'afudde.
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku muyizi wa yunivasite ya IUIU e Mbale, asangiddwa mu kazigo k'abadde apangisa ng'afudde. 

Dan Watyakala 24 ng'abadde asula mu Kiduda cell e Namatela ward mu Industrial division e Mbale, yasangiddwa leero nga yafiira mu muzigo ennaku nga ssatu eziyise kyokka ng'omulyango gw'ennyumba, muggule. 

Abadde mu mwaka gwe ogusooka ng'asoma busawo era ng'omulambo gwe, gulabiddwa Peter Namis 39 omusuubuzi e Musoto cell. 

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti omulambo gusangiddwa ku buliri nga ku mabbali waliwo amakerenda mu kakabe nga kuliko ebigambi poison. 

Agasseeko nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro, okugwekebejja bazuule ekyamusse. 

Tags:
yunivasite
Mbale
Omuyizi
Rogers Taitika