Poliisi ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku muyizi wa yunivasite ya IUIU e Mbale, asangiddwa mu kazigo k'abadde apangisa ng'afudde.
Dan Watyakala 24 ng'abadde asula mu Kiduda cell e Namatela ward mu Industrial division e Mbale, yasangiddwa leero nga yafiira mu muzigo ennaku nga ssatu eziyise kyokka ng'omulyango gw'ennyumba, muggule.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti omulambo gusangiddwa ku buliri nga ku mabbali waliwo amakerenda mu kakabe nga kuliko ebigambi poison.
Agasseeko nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro, okugwekebejja bazuule ekyamusse.