Amawulire

Eby'obugagga by'omugenzi Mosses Karangwa bitabudde famire

OLUTALO kakuuse lubaluseewo mu ffamire y'omugagga Moses Kaliisa Karangwa ng’entabwe evudde ku mmaali ey'obuwumbi n'obuwumbi bw'ensimbi omugenzi gye yaleka.

Abamu ku baana b’omugenzi Karangwa. Owookubiri ku ddyo ye Augustine Tumwine muto w’omugenzi. Ku ddyo ye Kobusingye ate ku kkono ye Kaliisa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLUTALO kakuuse lubaluseewo mu ffamire y'omugagga Moses Kaliisa Karangwa ng’entabwe evudde ku mmaali ey'obuwumbi n'obuwumbi bw'ensimbi omugenzi gye yaleka.
Abaana bakubye nnyaabwe mu mbuga basobole okufuna obwenkanya oluvannyuma lw’okulemwa okuteeseganya naye. Nnamwandu Florence Kirabo y'atabuse n'abaana mwenda, Karangwa be yazaala mu bakazi abalala. Karangwa yaleka abaana 12 era ng’omukyala ow'empeta Kirabo yamuzaalamu bana wabula omu yafa n'asigaza basatu.

Kigambibwa nti, abaana b'omugenzi nnamwandu abagobye mu maka n'ebintu bya kitaabwe n'aleeta bannyina n'abaana be yazaala ebbali nga tannafumbirwa Kalangwa.
Abaana mwenda okuli Jackline Birungi Kobusingye, Moses Kaliisa, Mugume Muhoozi n'abalala balumiriza nnyaabwe okuwamba n'okwekomya ebyobugagga bya kitaabwe nga bagamba yasooka kwezza ebyobugagga ebikola ebitundu 90 ku 100 wabula n'ebyo 10 ebyasigala abyagala.
Abaana nga bakulembeddwa Jackline Birungi Kobusingye ne Moses Kaliisa abaana abakulu abaabeeranga ku lusegere lwa kitaabwe baategese okusaba mu maka ga kitaabwe e Budaali we yaziikibwa wabula baasanze nnamwandu ataddewo abaserikale
ne babagoba era okusaba tekwabaddewo.
Abaana abaali babeera mu maka ag'e Jinja ne Bbaale balumiriza Kirabo nti yabagobayo dda era kati basula mu ba ng'anda. Birungi agamba nti ekyabatutte mu kkooti e Jinja, baagala eyimirize okutunda ebintu, era byonna bizzibwe wamu olwo bigabanyizibwe mu baana nga bagoberera amateeka agafuga ebyobusika.
Agamba nti nnyaabwe alina ekiwandiiko ky'ayita ekiraamo kye bawakanya era ebyobugagga ebigundiivu bya mirundi 18 tebiriimu mu kiwandiiko kyokka nabyo nnamwandu ayagala bimuweebwe.
BADDUKIRA EWA GEN. SALIM SALEH
Birungi yagambye nti, baakategeka enkiiko ssatu nga nnamwandu azeebalama. Olwasooka, Gen. Saleh yabayita e Gulu batuule, kyokka nnamwandu teyalabikayo
ne yeekwasa nti obulwadde bumugwiridde.
Enkiiko endala bbiri zaayitibwa eyali amyuka Ssaabalamuzi, Richard Buteera wabula nnamwandu zonna yazeebalama. Abaana abasoma basobeddwa kubanga tebamanyi gye
bagenda kuggya ffiizi n'ebyetaago by'essomero kubanga ebizimbe omuva ssente ne bizinensi endala tebakyasobola kubituukako.
Augustine Tumwine muto w'omugenzi agambye nti beewuunya mulamu waabwe okugoba abaana ba Karangwa mu bintu ate n'aleeta abaana be yazaala ebweru n'aba ffamire ye. Abaana balabudde nti tewaba omuntu yenna eyeetantala okugula ebintu bya Karangwa kubanga ensonga ziri mu kkooti.
Bukedde yatuukiridde nnamwandu ku ssimu n’agamba nti, amanyi kisumbuwa baana
kubanga omugenzi yalaama era buli kimu kiri mu bwiino. Kirabo agamba nti ekiraamo Karangwa yakireka wa looya wabula abaana tebaagala kukigoberera. Tumwine agambye nti Karangwa yafa nga May 17, omwaka guno wabula yali tannaziikibwa, yasanga nnamwandu atisse ente 60 ku Fuso bbiri ng’azitunze era n'azibasuuza. Agattako nti, ekiwandiiko nnamwandu ky'ayita ekiraamo bakiwakanya kubanga looya yabagamba nti, Karangwa yakiwa wa booda okukitwala ewa looya era bakiwakanyiza ddala.
EBYOBUGAGGA EBIBATABUDDE
lStar React security services

1 Sauti media services
2 City Fm media
3 Uniq oils
4 Satelite house
5 Misanga supply farm
6 Kawempe Apartments
7 Ekizimbe ku Namirembe Rd
8 Sq. Mairo 43 ez'ettaka e
Kayunga, Gulu, Apaa, Mubende
n'awalala.
9 Ennyumba z'amaka e Budaali Bbaale (we yaziikibwa), e Mengo ne Jinja.
10 Ennyumba ezipangisibwa e Jinja, Iganga, Mbaale, Kayunga n'ebitundu bya Kampala
eby'enjawulo.
11 Kkampuni ezitunda emmere n'ebintu ebirala mu bitongole by'ebyokwerinda okuli poliisi, amagye, amakomera n'ebitongole bya Gavumenti ebirala.
ABAANA ABATAKKAANYA NE NNAMWANDU l

Jackline Birungi
Moses Kaliisa

Mwebaze sarah S.4
Kamigisha Hanisa -yunivasite.
Nina Kaliisa S.6
Mugume muhoozi S.5
Karangwa Seidi n’abalala

Tags: