Amawulire

Gen. Muhoozi awadde minisita Nameere ennaku 7 okwetonda

OMUDUUMIZI w’eggye lya UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba era akulira ekisinde kya PLU awadde minisita Justine Nameere ennaku musanvu zokka amwetondere nga bw’atakikola yeenenyanga yekka.

Gen. Muhoozi Kainerugaba
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUDUUMIZI w’eggye lya UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba era akulira ekisinde kya PLU awadde minisita Justine Nameere ennaku musanvu zokka amwetondere nga bw’atakikola yeenenyanga yekka.
Obubaka Muhoozi yabutadde ku mukutu gwa X (eyali twitter) era ne bwongera okukakasa nga bw’alina obusungu obwamaanyi ku minisita omubeezi owa Gavumenti z’ebitundu.

“Nameere muwadde ennaku musanvu zokka ng’anneetondedde. Bw’atakikola tewali kijja kumutaasa,” bwe yagambye.
Muhoozi yasooka kuteekayo bubaka ng’agamba nti Nameere bw’aba yeeyisa bubi eky’okukola kyangu nnyo, bajja kumuggyako obwa minisita.
Ennaku omusanvu ze baamuwadde okwetonderako ziggwaako September 23, 2026 era ekirindiriddwa kwe kulaba ekiddako singa tewabeerawo kikyuse.
Embeera eno yaleetedde abantu bangi okwebuuza ekituufu ekyatabudde omukulu n’atuuka n’okulagira ‘Maama Papito’ nga bw’atera okweyita okumwetondera era n’akiteekako nsalessale.
Okulabula we kujjidde nga waliwo akatambi akaafulumye ku mikutu gya social media nga kalaga Nameere (mukazi/Masaka) ng’alabula Muhoozi aleme kulwanyisa babaka ba NRM.

Namera gwe baagambye okwetonda

Namera gwe baagambye okwetonda


Kyokka waliwo akatambi akalala akawanvu akalaga Nameere nga yali alumba akulira ofiisi ya ssentebe wa PLU, David Kabanda nga si Gen. Muhoozi. Kyokka akatambi akatali kawanvu kalabika nga kaakwatibwamu ne baggyamu erinnya lya Kabanda gwe baali boogerako.
Muhoozi okumanya nga munyiivu byakitalo yagambye nti eky’okusuula minisita yenna akola bye bataagala tebajja kukyewala mu kisanja kino.
“Okukyusa oba okusuula minisita atakola bintu byaffe abantu bye baagala kyangu nnyo. Mu kisanja kino tujja kusuula n’okukyusa abawera,” Muhoozi bwe yagambye.
Olutalo lwa Muhoozi ne Nameere, Kabanda yaluyingiddemu ne yeebuuza engeri Nameere gye yawangulamu ekifo ky’omubaka omukazi owa Masaka City.
“Teyawangula mu butuufu. Abantu b’e Masaka beetaaga okuddamu okulonda” Kabanda bwe yagambye ng’ayita ku X.
Olutalo lwa Kabanda ne Nameere lubadde lwatandika dda mu biseera Kabanda we yabeerera ssaabawandiisi wa PLU era n’alangirira nga ekisinde kya PLU bwe kyali kiggye obwesige mu Anita Among nga tebagenda kumuwa buwagizi ku kifo kya Sipiika.
Nameere yavaayo n’alumba Kabanda olw’okwefuula ow’ekitalo n’amulumiriza okukola ebibye nga yeerimbise mu linnya lya Gen. Muhoozi.
Kabanda ne ku mulundi ogwo, era yamusaba alage empapula za DR Forms eziriko omuwendo gw’obululu gwe yafuna mu bifo byonna ebironderwamu mu Masaka City.
Waliwo akatambi akalala akaafulumye gye buvuddeko nga kalaga Nameere ng’akunga abantu okugenda ku kabaga k’eyali Sipiika wa Palamenti, Anita Among. Kyokka Nameere yavaayo n’ategeeza nti kaali kaakwatibwa mabegako nga May 6, 2026 kyokka nga waliwo abalaga ng’akapya.
Nameere yategeeza nti waaliwo bannakigwanyizi abaali bakyusizza akatambi n’ekigendererwa ky’okufuna obuganzi okuva ewa Gen. Muhoozi nga bayita ku kwonoona amannya g’abalala.
Nameere yategeeza nti muwulize eri NRM n’ategeeza nti azze agikolera okuviira ddala ng’akyali ku yunivasite, nga munnamawulire era nga yeetaba butereevu mu mirimu gy’okukungira ekisinde kya PLU mu bitundu by’e Masaka.
Nameere bwe yabuuziddwa ky’ayogera ku ky’okwetondera Gen. Muhoozi, omuyambi we eyakutte essimu yasuubizza okutuddira ng’amaze okwogera n’omukulu.
Muhoozi w’aviiriddeyo nga Nameere alina obutakkaanya ne minisita omujjuvu owa Gavumenti z’ebitundu, Balaam Barugahara ekyabatuusa n’okulekeraawo okutambulira awamu mu bikwekweto by’okulwanyisa enguzi.
Gen. Muhoozi yasooka kutabuka ne minisita w’ebyobulamu Dr. Chris Baryomunsi n’amulabula nga bwe yali tajja kuddamu kulondebwa ku bwa minisita. Kyokka ensonga balabika nga baazikwata kisajja kikulu era olutalo lwabwe terwaddamu kuwulirwa.
Kyokka waliwo n’ebyogerwa nti entalo ennyingi Nameere z’alina n’abantu ab’enjawulo, nabo balina engeri gye baseesaamu okulaba nga bamusuula.
Tags: