Amawulire

Jayden owa Tik-Tok alese abawagizi be mu nnyiike

OMUVUBUKA Jayden ow’oku mukutu gwa Tik-Tok, afudde n’aleka abawagizi mu nnyiike, be yasiibula ng’agenda e Buyindi okumukyusa obusomyo n’abasuubiza okudda abakube ekiboozi.

Jayden nga bwabadde afaanana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUVUBUKA Jayden ow’oku mukutu gwa Tik-Tok, afudde n’aleka abawagizi mu nnyiike, be yasiibula ng’agenda e Buyindi okumukyusa obusomyo n’abasuubiza okudda abakube ekiboozi.

Jayden, amannya ge ag’obuzaala ye Kayanja Timothy nga mutabani wa Kayanja ne Annet Nalubowa kyokka bano baayawukana oluvannyuma lwa Jayden okuzaalibwa n’azuulwamu obulwadde bwa nnalubiri era abasawo ne bawabula nti emikisa mingi nti n’abaana abalala be bayinza okuzzaako, bandibeera n’obulwadde buno.

Taata yagenda e Wakiso ate maama n’asigala e Namung’oona nga Jayden y’abadde atera okubeera.
Erinnya Jayden lyamukazibwako, oluvannyuma lw’okukola ka vidiyo mu nnaku za Ssekukkulu ya 2023, ng’ayogera ku ngeri abazadde bannakibuga bwe bagenda mu kyalo ne batinkiza ennyo n’abaana baabwe nga babatiisa ebintu ebya bulijjo.

Abaana bano yabeeyitiringa erinnya lya ‘Jayden’ ng’agamba nti lye lyali lisinze okutuumibwa abaana mu mwaka ogwo. Olwa buvidiyo obwatambula ennyo ku mboozi ye n’abaana ba Jayden, abantu kwe kumukazaako erya Jayden wadde nga ye Timothy. Ono era abadde

musanyusa wa bangi, ng’emboozi ze z’abadde atera okussa ku Tik-Tok, zibanyumira.
Wakati ng’afunye ettuttumu, era yali ku mutimbagano n’ategeeza ng’abasawo bamuwadde emyezi 3 gyokka ng’ali ku nsi singa takyusibwa busomyo.
Okumukyusa obusomyo kuno, kwalina kukolebwa Buyindi era nga ssente nnyingi ezeetaagisa. Abantu ab’enjawulo baamusondera ensimbi agende ebweru
alongoosebwe era akyusibwe obusomyo kye bayita ‘bone marrow transplant’. Oluvannyuma lwa ssente okusondebwa, yatwalibwa e Buyindi akyusibwe obusomyo mu July. E Buyindi, yalongoosebwa bulungi era n’adda engulu wabula olugendo lwe olw’okuwona ne lujjamu amakuuli kuba abadde atereeramu nga bw’addamu
okubeera obubi n’assibwa mu kasenge k’abayi. Embeera bw’eti agibaddemu okutuusa lwe yafudde ku Lwokubiri. Omubiri gwe, gukyali Buyindi gy’abadde ajjanjabibwa ng’ali ne nnyina era bateekateeka kuzza mulambo. Jayden, afiiridde ku myaka 24. Olumbe lukumibwa Wakiso. Abadde yasoma byamawulire ku UMCAT

Tags: