Pulezident Museveni asabye bannayuganda basiime gavumenti ya NRM gyeggye eggwanga lyaffe kubanga baagenda okujja mu buyinza baasanga lyafuuka lya butabanguko na ddukadduka.

Bannakibiina kya NRM nga basala cake y'amazaalibwa ga Pulezidenti Museveni
'Eggwanga lyali lyaggwa dda nga lyafuuka lya butabanguko, obubbi n'e bikolobeero ebitagambika kyokka NRM bweyakwata obuyinza kati ebyo byafukka lufummo' Bwatyo Museveni bweyategezezza mu bubaka bwe bweyatisse omumyuka we Jessica Alupo ku mazaalibwe ge ag'entaka 82.
Alupo yagambye nti Pulezidenti Museveni yabadde wakubeerawo ku mazaalibwa ge agamutegekeddwa e Kololo ng'omugenyi omukulu wabula yalemereddwa ku ssaawa envanyuma olw'obuvunaanyizibwa bw'alina kyokka n'amutuma okubeerawo nga bannayuganda bamujagulizaako ne banna- NRM okutwaliza awamu okwetoloola eggwanga.

Museveni ategeezezza nti mu kiseera kino Uganda emirembe mwegiri, eggwanga likuze mu byenfuna nga tuli ku mutendera gwa 'middle state income' kwogatta ne domikulasiya abukadde obulungi ayambye okwongera bamusiiga nsimbi okuyaayana okuggya okutandiikawo muno bizinensi zabwe omuli amakoleero ne bizinensi enddala ekiyambye eggwanga lino okukula.
'Nsaba buli munnayuganda okubeera mwoyo gwa ggwanga awatali asosoola munne lwa ggwanga lye, eddiini oba ekikula kye' Museveni bweyategezezza.