BBAASI ezisoba mu 20 zikwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu ppaaka ez’enjawulo mu Kampala eggulo.
Ezimu zaasangiddwa zitisse abasaabaze nga zigenda kufuluma ppaaka wabula ne kizuulwa nga tezirina bisaanyizo kukola mulimu guno.
Ezimu ku bbaasi ezaakwatiddwa zaasangiddwa tezirina layisinsi ya PSV eya buli mwaka ebakkiriza okukola omulimu guno.
Bbaasi endala zaasangiddwa nga zirina layisinsi ya PSV wabula nga baddereeva baazo tebalina bisaanyizo bibakkiriza kukola mulimu guno omuli n’obutabeera na bbaagi ebakkiriza okuvuga.
Endabika ya baddereeva abamu ye yabalemesezza nga balabika nga abanywedde ku mwenge ekyawalirizza abapoliisi okutumya obuuma obupima obungi bw’omwenge omuntu gw’aba anywedde era abamu ne bakubibwa jjeeke ne babatikka ku pikipiki okubatwala ku poliisi ya Kampalamukadde.
Ekikwekweto kino kyakoleddwa poliisi ng’eri wamu ne minisitule y’ebyenguudo n’entambula.
Abamu ku baddereeva abatalina bisaanyizo olwalengedde abatulafiki nga bayingira ppaaka ne bagezaako okuzifulumya wabula ne bazizingiza ne babalemesa okuzifulumya.
Waliwo bbaasi ya kkampuni ya Busca ey’e Kenya eyasangiddwa ng’evugibwa kanaabe eyabadde agamba nti agitwala ku mazzi, n’ekwatibwa okutuusa ddereeva waayo bwe yazze.
Ekikwekweto kyatandise ku makya nga kyayindidde mu ppaaka ya Namayiba ne Kisenyi nga kyagendereddwaamu okulwanyisa obubenje ku nguudo.
Omumyuka wa kamisona avunaanyizibwa ku mateeka g’ebyenguudo, Apollo Kashanku nga ye yakuliddemu ekikwekweto yagambye nti bbaasi ezaakwatiddwa kuliko n’ezigenda mu mawanga g’omuliraano nga zaasangiddwa tezirina layisinsi.
Ate omumyuka w’omuduumizi wa poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Justin Opus yalabudde bannannyini bbaasi nti balina okwewala okukolera mu nkukutu era wabweru w’amateeka kuba kino nabo kibakosa nga zikwatiddwa ng’oggyeeko okuteeka obulamu bw’abazitambuliramu n’abantu abalala abeeyambisa enguudo mu matigga.
Ebikwekweto byatandika omwezi oguwedde era nga mmotoka eziwerako omuli ne loole ekika kya Sinotruck, takisi ne bazitemako nnamba okutuusa nga ziddaabiriziddwa