Amawulire

Poliisi ekutte 4 ku by'okubba pikipiki ne baziguza abantu mu bitundu eby'enjawulo

ABANTU 4 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki ne baziguza abantu mu bitundu eby'enjawulo, bakwatiddwa. Mu kikwekweto kino , waliwo pikipiki eziwerako ezizuuliddwa , nga zirowoozebwa okuba enzibe.

Poliisi ekutte 4 ku by'okubba pikipiki ne baziguza abantu mu bitundu eby'enjawulo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 4 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki ne baziguza abantu mu bitundu eby'enjawulo, bakwatiddwa. Mu kikwekweto kino , waliwo pikipiki eziwerako ezizuuliddwa , nga zirowoozebwa okuba enzibe.

Kino kiddiridde obubbi bwa pikipiki nnamba UMA era nga kigambibwa baagikutte ne Purtaz Banturaki ow'e Wankuluku mu muluka gw'e Kabowa e Rubaga mu Kampala.

Kitegeezeddwa nti yakakasizza poliisi nga bw'aliko pikipiki endala bbiri ze yabba e Nkumba  okuli UFH 005 Y era nga yagiguza Muminu Lukyamuzi ne Abas Mwesezi ab'e Rakai. Endala nnamba UEQ nti yali yagibba Kigungu e Ntebe n'agiguza Mike mu Wansanso e Katwe.

Mu kikwekweto poliisi kye yakoze e Wansanso, ppiki eno baagizudde ne bakwata Derrick Ssenyange ne Ian Kaggwa.

Nga Sept 2, bambega baayolekedde e Rakai ne bakwata Lukyamuzi era n'akkiriza nga bwe yagula pikipiki UFH 005Y ku 500,000/ era ye ne munne Mwesezi ne bagitunda mu sipeeya. Nnamba plate UFH 005 Y baagizudde wamu ne pikipiki endala nnamba UDM 669Z Bajaaj Boxer.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyayigga abalala.

Tags:
Amawulire
Kubba
Pikipiki
Kibinja
Bantu