OMUKOZI w’ekitongole bamukubye amasasi agamuttiddewo nga yeetegekera okugenda mu kkooti okuwoza omusango gw’ettaka ly’aludde ng’akaayanira n’aba ffamire mu Kampala.
Mike Wampeewo, 51, ye yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo nga yaakatuuka mu maka ge agasangibwa ku kyalo Kigoogwa mu divizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana. Wampeewo yatuuse ewuwe ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ku Mmande mu mmotoka ye ekika kya drone.
Kigambibwa nti bwe yatuuse, yeekengedde booda eyabadde emuwondera era n’aggyako amataala. Abatemu abalala abaabadde baamulinze edda, tebaamuganyizza kuggula luggi ne bafubutuka mu bitooke ne bamukuba amasasi ge baayisizza mu ndabirwamu ne bamuyiwa obwongo n’akalirawo!
Entiisa yabuutikidde ekyalo, abatuuze ne bakuba enduulu n’okwebuuza ensonga ettisizza munnaabwe abadde talina buzibu. Omugenzi abadde akolera mu kkampuni emu etambuza abalambuzi. Abatemu olwasse Wampeewone balumba amaka ga muganda we, James Semuyaba ne bagezaako okuggula ggeeti, n’ebalema olwa kkufulu ez’amaanyi ezaabaddeko n’embwa bakira eziboggola munda mu kikomera.
Semuyaba yagambye nti, ekyassizza muganda we, ze nkaayana z’ettaka lya ffamire eriri e Masanafu mu Kampala, nga waliwo abooluganda be bagugulana nabo. Yagambye nti, omugenzi we baamuttidde nga bakeera mu kkooti e Mmengo ku Lwokubiri batwaleyo obujulizi.
Akulira ebyokwerinda mu kitundu, Francis Musaazi yagambye nti obubonero bulaga nti abazigu baabadde beetegese nnyo nga waliwo abaalindidde okumpi n’awaka mu bitooke, abatambulira ku booda n’abaabadde mu mmotoka esimbye okumpi n’amaka g’omugenzi era gye baalinnye okweyongerayo.
Mu kiseera we baakubidde Wampeewo, abaana be n’omukyala baabadde mu nnyumba. Mu kiseera kino mukyala we, yakwatiddwa poliisi abayambeko mu kunoonyereza. Enduulu eyakubiddwa ffamire y’omugenzi ye yatemezza ku batuuze abalala nti waguddewo obuzibu.
Musaazi yayongeddeko nti, abatuuze abaasoose okutuuka ku mugenzi baabadde basuubira nti akyalimu akalamu ne bapapa okumuddusa mu ddwaaliro, kyokka baagenze okumwetegereza ng’afudde era ne bamuleka okutuusa poliisi bwe yazze.
Embwa ya poliisi ekonga olusu bwe yazze, olwavudde ewa Wampeewo yayolekedde ku ggeeti ewa Semuyaba ekyalaze nti abatemu baatuuseeyo. Olw’okuba abatemu baalinnye emmotoka nga bagenda, embwa nayo yakomye awo. Abatuuze baasigadde beebuuza ekyassizza munnaabwe ne basaba poliisi enoonyereze ezuule abatemu kuba bonna mu kiseera kino bali mu kutya.
Semuyaba yagambye nti, yawulidde abazigu nga batetenkanya ggeeti nga mu budde obwo embwa ezikuuma awaka zaaboggodde nnyo ekyamulaze nti ziriko abantu abakyamu be zirabye ne Abantu kye bagamba
Rauben Tumusiime: Abantu basusse okubeera n’emmundu. Gavumeni ekole ekisoboka okuzuula eyasse munnaffe kuba tuli mu kutya.
Daudi Ssaku: Mu nsi tetukyalina bukuumi, twebuuza kiki ekituufu ekyassizza mutuuze munnaffe! Poliisi ekole ekisoboka enoonyereze abakoze ekikolwa kino.
Margaret Namusoke; Tuli mu kaseera kazibu kuba ku Ssande twabadde mu kusanyuka nga tetumanyi nti omu ku ffe agenda kutuvaako.
badduka kuba ne kkufulu zennyini zaabadde za maanyi ku ggeeti.
DPC w’e Matugga, Yudaaya Mugoya yagambye nti, poliisi yatandise okunoonyereza ezuule ekituufu era nga waliwo abantu abaakwatiddwa be bataagala kwasanguza mu kiseera kino.