OMUYIIYA w’ennyimba ez’Eklezia, Rev. Fr. Dr. James Kabuye afiiridde ku myaka 92.
Fr. Kabuye yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya gy’amaze ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde. Amawulire g’okufa kwe gaakakasiddwa omuwandiisi w’Essaza lya Kiyinda Mityana, Rev. Fr. Emmanuel Tamale.
Mu kiwandiiko kye yafulumizza ku lwa Bp. Joseph Anthony Zziwa, yabikidde Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere, Kalidinaali Emmanuel Wamala, omusumba w’e Masaka, Serverus Jjumba, owa Kasana Luweero, Lawrence Mukasa n’ow’e Lugazi, Christopher Kakooza n’abantu ba Katonda bonna.
‘’Twebaza Katonda olw’obulamu n’obuweereza bwe, tusaba Katonda amuwummuze mirembe,’’ Fr.Tamale bwe yategeezezza. Fr. Kabuye abadde wa ttutumu olw’ekitone ky’obuyiiya bw’ennyimba ezitendereza Omutonzi.
EBYAFAAYO BYE
Yazaalibwa abagenzi Pia Alibayagadde n’omusomesa wa katikisimu Yakobo Baziwandiika e Ttanda mu Mityana nga January 14,1939.
Okusoma yakutandikira mu Naluggi P/S gye yava okwegatta ku Seminaliyo ento ey’e Bukalasa ng’oluvannyuma yeeyunga ku seminaliyo enkulu eya Katigondo.
Oluvannyuma lwa wiiki bbiri ng’aweereddwa obusosodooti mu 1962, yasindikibwa mu ggwanga ya Switzerland okwongera okubangulwa mu by’ennyimba, gye yafunira omukisa omulala okwegatta ku Marian College eritendeka ennyimba z’Ekikatoliki mu America gye yamala emyaka esatu. Bino byaddirira Ssaabasumba omugenzi Joseph Kiwanuka okumuzuulamu ekitone ky’okuyimba.
Mu 1967, yagabibwa ku Lutikko e Lubaga, n’atandika okukyusa ennyimba z’eddiini okuva mu Lulatini.
Ewalala gye yaweerereza kuliko; Mitala Maria, essaza lya Kiyinda Mityana, essomero lya Bathany High School n’ettendekero ly’abasomesa b’eddiini erya Mityana Catechetical Training Centre.
Ezimu ku nnyimba ze yayiiya kuliko; Nja kuyingira, Nga nnungi, Tusimbe ffenna mu kisinde, Beesiimye nnyo abatukuvu, Ayi Mukama otenderezebwe, Tukwebaza Trinita Katonda Omu, Nzuuno Nkonkona, Ngambe Ntya?, Yezu Nkusinza, Tukusinza Yezu Kabaka, Nze Mugaati gw’Obulamu, Tugulumizze Omukama Yeruzalemu, Katonda Taata, Oli Musiige, Natenda ng’Omukama, Ye ggwe Katonda wa Bajjajjaffe n’endala.
Okuwandiika ennyimba yakutandika mu 1960, ng’akyali mu seminaliyo e Katigondo.
Waakuziikibwa ku Lwomukaaga ku Lutikko ya Kiyinda Mityana.