Amawulire

Eyasazeeko omwana we omutwe ayogedde ebitiisa: "Nabadde ntya okwawukana ne mmange eyali yakoowa edda omukazi gwe nnazaalamu"

Omuvubuka Okello Bashiru eyasazeeko omwana we obulago omulambo n’aguziika n’adduka ku kyalo akwatiddwa n’abuulira poliisi ebitiisa. 

Eyasazeeko omwana we omutwe ayogedde ebitiisa: "Nabadde ntya okwawukana ne mmange eyali yakoowa edda omukazi gwe nnazaalamu"
By: Mukasa Kivumbi, Journalist @New Vision

Omuvubuka Okello Bashiru eyasazeeko omwana we obulago omulambo n’aguziika n’adduka ku kyalo akwatiddwa n’abuulira poliisi ebitiisa.

Abatuuzeb'e Bufumbe  Nga Bawerekera Poliisi, Okello bwe yabadde agitwala awali omulambo gw'omwana.

Abatuuzeb'e Bufumbe Nga Bawerekera Poliisi, Okello bwe yabadde agitwala awali omulambo gw'omwana.

Agambye nti okusala omwana yali alina okukikola kuba nnyina amuzaala yali yakyawa omuwala Tracy Namudope omuwala gwe yazaalamu omwana nga tayagala na kumulabako.

 

Yayongeddeko nti yagenda okulaba nga nnyina ayagala kumukyawa lwa mukazi we kujja waka wa maama we, aleeta mwana kwe kusalawo amuggyewo asobole okusigala ne nnyina .

 

“Twayagalana ne mukazi wange emyaka esatu emabega ne tuzaala omwana kyokka maama wange n’alabika nga omuwala teyamusiima kwe kuva awaka ne mpangisaako omuzigo awo okumpi n’awaka.

Namudope nnyina W'omwana Gwe baasala Obulago.

Namudope nnyina W'omwana Gwe baasala Obulago.

Yayongeddeko nti nnyina yakiraga nti ayagala baawukane n’omuwala ng’agamba nti omuwala mulema ate mucaafu.

 

 

Ayongeddeko nti omwana bwe yaweza omwaka gumu n’ekitundu yalwala, ne bamutwala mu ddwaliro e Buikwe gye baabategeereza nti omwana aweereddwa obutwa, ebyembi n’afa, naye n’asigala nga yeebuuza eyawa omwana obutwa nga tamatidde.

 

Omuwala bwe yafuna olubuto olulala nnyina wa Okello yamugobera ddala awaka nga tayagala alinnyewo okutuusa lwe yazadde omwana omulenzi.

Hellen Butoto Omwogezi Wa Poliisi Mu Sezibwa Ng'ayogerako eri aako Eri abatuuze.

Hellen Butoto Omwogezi Wa Poliisi Mu Sezibwa Ng'ayogerako eri aako Eri abatuuze.

“Bwe yaleeta omwana nga mulwadde nnali mu nnimiro ne bankubira essimu kwe kujja kyokka nnali sirina sente kwe kusaba maama annyambe ampeeyo omutwalo ntwale omwana mu ddwaliro kyokka yanziramu bubi nga bw’andagira okuggya omwana awaka nti tayagala mwaana na nnyina kujja waka we” Okello bwe yayongeddeko

 

Mu kiseera ekyo nasanga omwana bamwebasizza ku lubalaza nga maama ayomba, mukazi wange kwe kumuviira n’agenda ku muliraano awaali mikwano gye.

 

Nalowooza ebintu bingi era nagenda okulaba nga ng’enda kwawukana ne maama lwa mukyala oyo ate nga sirina bwe mugaana kuddamu kulinnya waka ng’alina omwana.

Okello eyasalako Omwanawe Obulago.

Okello eyasalako Omwanawe Obulago.

Omwana yamuggya mu nsawo nga yeebase n’amusala obulago era bwe yakakasa nti amaze okufa omulambo n’aguzza mu nsawo n’aguziika mu nnimiro nnyina gye yali alimira.

 

Okello yadduka ng’amaze okutegeera nti omwana amuse, kyokka yafuna essimu ng’emusaba okufunira omuntu omukozi ku ffaamu era eyamukubira n’amusaba asooke amulabe amukebere oba mulamu bulungi, awo we baamukwatira. OC w’e Lugazi yaleeta abajaasi ne bamukwata era n’akkiriza omusango

Okello Wakati Ng'atuusizza poliisi we yaziika omwana.

Okello Wakati Ng'atuusizza poliisi we yaziika omwana.

Ono yakulembedde bambega ba poliisi abaakuliddwa Akumu Perusi n’abatwaala mu kifo we yasalira omwaana ne baggyawo omusaayi ogwaabadde gukalidde ku bisubi ne mu ttaka era n’abatwala ne we yaziise omwana we

 

Yakomezeddwawo e Bufumbe mu Sitenseni ne yeetondera namungi w’abatuuze bakira abawerekera poliisi okutuuka yonna gye bayitira n’abasaba okumusonyiwa nti byonna ebyaliwo yabikozesa butamanya.

 

Kyokka abatuuze baabadde baagala ne nnyina wa Okello akaatibwe n’abalala abaayambako okello okudduka kuba babamanyi kyokka ne kizuulibwa nga nnyina wa Okello yabadde yeemuludde n’abaako w’alaga nga ne poliisi teyalaze nti emwetaaga nnyo.

 

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto yayogeddeko eri abatuuze n’abagumya nti Okello waakuvunaanibwa omusango gw’okutta omwana nga agenderedde n’asaba abatuuze oba bamanyi eyayambako Okello bategeeze poliisi era n’abalabula ku bikolwa ebifaanana nga kino nti bajja kubasiba n’ebigendererwa byabwe bireme kutuukirira

 

Tags:
Amawulire
Buikwe
Ttemu
Mukazi
Mwana